Bya Ssemakula John
Kampala
Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) balaze okutya ku mbeera y’ebyokwerinda eri mu ggwanga nga bagamba nti ab’ebyokwerinda bandibasibako ebya bbomu zino basobole okubakwata n’abawagizi baabwe.
Okusinziira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, David Lewis Rubongoya weetaaga okubaawo okunoonyereza okutuufu okuzuula abali emabega w’ebikolwa bino nga poliisi tennatandika kubaako beesongamu lunwe.
Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya ku Mmande, Rubongoya yategeezezza nti ebiriwo biraga nti waliwo olukwe poliisi okubateekako emisango egyekuusa ku bbomu zino.
“Omu ku beerabiddeko ku byabaddewo nga bbomu eno ebaluka e Komamboga ku Lwomukaaga, yagambye nti abateeberezebwa babadde bayambadde ngoye ya People Power ekiraga nti ensonga bazitaddemu ebyobufuzi.” Rubongoya bwe yategeezezza.
Rubongoya agamba nti bafunye abantu ababatuukirira nga balumiriza gavumenti okubasasula basobole okulumiriza aba NUP okubapangisa batemeteme abantu awamu n’okukola ebivumaganya oludda oluvuganya n’okutabangula eggwanga.
Ate ye omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi agamba nti abali emabega w’ebikolwa bino bangu baakuzuula singa ab’ebyokwerinda bakola bulungi ekyo kye bateekeddwa okukola.
“Poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala bwe bikola ekyetaagisa mu kunoonyereza si kizibu kuzuula bantu bali mabega wa bikolwa bino.” Ssenyonyi bw’annyonnyodde.
Bwe yabadde eyogera ku bulumbaganyi obwabadde e Komamboga mu Kampala, poliisi yategeezezza nti bwakoleddwa abantu abali munda mu ggwanga abakkiririza mu bikolwa by’obutujju wadde ng’abatujju abamanyiddwa mu nsi yonna nga Islamic State beewaanye okubeera emabega w’ebikolwa bino.