Bya Musasi Waffe
Kampala
Ekibiina kya National Unity Platform (NUP), bataddewo ensawo y’obujjanjabi obusookerwako, okujjanjaba abawagizi abafunye ebisago mu ntabaalo za Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), zaaliko ng’anoonya okuwangula obwapulezidenti mu kalulu ka 2021.
Bano abeekozeemu akabiina ne bateekawo n’ensawo okuyambako n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi, batandise okukunga abantu okwetooloola eggwanga n’ebunaayira, okuwaayo kye balina, kiyambeko okulabirira bannakibiina abapooca n’ebisago mu malwaliro ag’enjawulo.
Dr. Joel Mirembe agambye nti ekirowoozo kino baakifuna nga Kyagulanyi yaakamala okwewandiisa ku bwapulezidenti kubanga bwe baali e Kyambogo n’okutongoza Manifesito e Mbarara, abantu abasoba mu 20 baatuusibwako ebisago ab’ebyokwerinda era ne batwalibwa mu ddwaliro.
“Abantu baffe abasoba mu 20 bakoseddwa, waliwo abagenda okufuna obubenje nga butuuseewo, butuusi, waliwo abagenda okufuna ebisago nga bakoseddwa ab’ebyokwerinda, buli alina obuyambi obwa buli ngeri atuyambe kubanga abantu bano tulina okubafaako,” Dr. Mirembe bw’agambye.
Oluvannyuma lwa Kyagulanyi okwewandiisa, abawagizi ba Kyagukanyi abawerako baakwatibwa nga mu bano kuliko n’omwogezi w’ekibiina, Joel Ssenyonyi ne Dr. Lina Zedriga, bwe bali bagezaako okugenda e Kamwokya okutongoza Manifesito.
Kigambibwa nti waliwo abaalumizibwa nga Kyagulanyi ava okutongoza Manifesito e Mbarara, ku bano kuliko aba ‘Busaabala Best Army’ abawera kkumi n’abaakoonebwa emmotoka ku nkulungo y’e Busega.
Dr. Mirembe agamba nti waliwo abali e Mulago mu ddwaliro okuli; Ssewannyana Muhammad n’omulala amanyiddwako erya Ssempijja eyamenyeka okugulu, era nga n’abalala bangi bapooca n’ebisago nga y’ensonga lwaki bataddewo ensawo eno esobole okubayambako.
Okusinziira ku Mirembe, ensawo eno ejja kuyambako abawagizi okufuna obujjanjabi kubanga be balinawo kati buli omu yeetaaga ssente ezisoba mu bukadde 10 okufuna obujjanjabi n’okuyimirizaawo amaka gaabwe.
Akola nga Minisita w’ebigwa bitalaze mu kibiina kya NUP, Muhammad Sseggirinya, agambye nti batandise okusaba abazirakisa okudduukirira babiri ku bannakibiina abali mu mbeera embi.
Kigambibwa nti abawagizi ba Kyagulanyi abawerako mu bitundu by’omu bukiika kkono baalumiziddwa nga poliisi erwanagana nabo okugezaako okubagumbulula e Pakwach, Nebbi, Arua, Kitgum ne Pader.
URN