
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asibiridde bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) amagezi batuule bateese okusobola okumalawo obutakkanya bwebalina kuba buli asobya tebatta mutte.
Obubaka buno Mukuumaddamula Mayiga abubaweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bwebabadde bakyadde embuga okusobola okwetaba mu nteekateeka y’emisinde gya Kabaka nga bagula emijoozi.
“Mulina okugumiikirizigana, Hon. Ssenyonyi alina abaana babiri kati naye ojja kulaba nga tebafaanagana ate nga baana bo, onaakikola otya onaabaako gw’okasuka ebweru?? Mulina okuyiga buli omu okugumiikiriza munne, mulina okuyiga buli omu okussaamu munne ekitiibwa, mulina kubiyiga kati nga mukyali ku ludda oluvuganya, kuba bwotalinda nga tonafuna buyinza ate olwo bwo’onobufuna onaaba ogambwako!!” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Kamalabyonna Mayiga abasabye omuntu bwasobya bamuyite, batuule era boogere kuba singa bagenda mu maaso n’okwevuma ekinaddako kwegwa mu bulago ate olwo kyebaliko kijja kuba kibalemye.

Owek. Mayiga era asinzidde wano nannyonnyola nti eddembe ly’obuntu kikulu kyonna era abantu balina okuliweebwa nebeetaaya kubanga Uganda nnene era esobola okumala bulungi abantu bonna abagirimu. Kamalabyonna Mayiga agattako nti abantu balina eddembe okukuba enkung’aana kasita babeera nti bakikolera mu mateeka.
Ono ategeezezza nti e Mmengo baaniriza buli muntu awatali kufaayo ku kibiina kya byabufuzi, Eggwanga oba Eddiini kasita abeera nga assa ekitiibwa mu Ssaabasajja abeera n’eddembe okwegazaanyiza embuga.
Kamalabyonna Mayiga abeebazizza olw’okuvaayo okuwagira enteekateeka y’Emisinde gya Kabaka wabula naabasaba okutagatta byabufuzi mu nteekateeka eno ku lunaku lw’emisinde nga 7, 04, 2024 kubanga Kabaka wa bonna era abantu be bonna bajja kubaayo mu nteekateeka eno.
Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Rt Hon. Joel Ssenyonyi ategeezezza nti baguze emijoozi gya bukadde bwa Silingi 21 okuwagira enteekateeka za #KabakaBirthdayRun2024 era neyeeyama okuwagira buli nteekateeka Beene gyanokolayo okukyuusa embeera z’abantu be.

Omubaka Ssenyonyo yeebazizza Kamalabyonna Charles Peter Mayiga okufisaawo akadde n’abasisinkana okusobola okugula emijoozi gya Kabaka era nawera okusigala nga muwulize eri Nnamulondo.
Ye Minisita w’ Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga yeebazizza bannakibiina ki NUP olw’okuwagira enteekateeka ya #KabakaBirthdayRun2024 egendereddwamu okulaba nti Abaami bayambako nnyo ku kutaasa abaana ab’obuwala ku kirwadde kya Mukenenya.
.









