Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) mu Palamenti, Ibrahim Ssemujju Nganda, agamba nti bannaabwe ab’oludda oluvuganya naddala aba NUP baabaliddemu olukwe bwe baasazeewo okuwagira abadde Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga mu kulonda Sipiika wa Palamenti y’e 11.
Ssemujju eyabadde yeesimbyewo mu kalulu akaawanguddwa Jacob Oulanyah, yagambye nti bangi ku bannakibiina kya NUP baalabiddwako nga bakukuta ne munnakibiina kya NRM Rebecca Kadaga wadde nga bakimanyi bulungi nti ye mumyuka owookusatu owa ssentebe w’ekibiina kye baagala okuggya mu buyinza.
“Bano baasazeewo okuwagira Kadaga kuba yabadde n’abantu, era ono bwe yasembeddwa okuvuganya aba NUP be baasinze okusanyuka . Bayinza batya okugenda n’omumyuka owookusatu owa ssentebe wa NRM? Ne batuuka n’okukaaba ng’awanguddwa?” Ssemujju bwe yeemulugunyizza.
Ssemujju yategeezezza nti yawandiikira buli omu omuli n’akulira NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, n’amusaba okumusisinkana kyokka teyamuddira wabula yagenda okuwulira nti Bobi Wine ayise ababaka be era n’abalagira okuwagira Kadaga.
Ono agamba nti ensonga lwaki ab’oludda oluvuganya baalondeddwa lwakuba bannansi tebaagala NRM ne Museveni era n’asaba aba NUP okwetereeza mu bwangu. Ssemujju annyonnyodde nti NUP esaanye okwetondera oludda oluvuganya olw’okukolagana ne NRM ne balekawo abalala bwe bafaananya ebigendererwa.
Ate ye eyavuganyizza ku kkaadi ya FDC, Yusufu Nsibambi, yeemulugunyizza ku kya bannakibiina kya NUP okuleeta katemba mu kalulu kano ne bamaliriza nga batabudde abantu.
Nsibambi agamba nti waabaddewo n’obupapula obutambula nga busaba abantu okulonda Among owa NRM era obwedda buli akafuna afuluma.
“Twabadde ku nsonga nkulu naye abamu ku bannaffe ku ludda oluvuganya ne bavaayo n’ebiteeso eby’ekiralu ekyalaze nti ebyabadde bigenda mu maaso tetwabiwadde makulu nga Opozisoni.” Nsibambi bw’agambye.
Ku nsonga zino omubaka wa Nakawa West era omwogezi wa NUP , Joel Ssenyonyi, ategeezezza nti baabadde baagala okufuna sipiika ayinza okuyisa obulungi oludda oluvuganya era y’ensonga lwaki baasazeewo okulonda Kadaga.