![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/image-1024x768.png)
Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ne bannakibiina kya National Resistance Movement-NRM mu kitundu kye Acholi baziimudde ebiragiro bya minisitule y’ebyobulamu kukuziyiza ensaasaana y’ekirwadde kya Covid-19.
Kadaga anoonya kweddiza kifo kya mumyuka wa Ssentebe wa NRM mu ggwanga lyonna.
Kadaga yabadde wamu n’abakungu ba NRM okuli Mike Mukula, Sam Engola, Moses Kalisa Kalangwa ne William Nokrach akiikirira abantu abalina obulemu ku mibiri.
Olukungaana lwabwe baalutuuzizza ku ssomero lya St Monica Girl`s Tailoring School mu divizoni ya Laroo-Bardege mu disitulikiti y’e Gulu ku Sande.
Olukungaana luno lwetabiddwamu Banna NRM abasukka mu 500 kyokka nga batono nnyo abaabadde baambadde obukookolo era nga nebya tonsemberera sibyebaliko.
Wabaddewo akakyankalano Rebecca Kadaga weyatuuse mu kitundu abantu nebagenda okumwaniriza era nebazina bwonna amazina nga aba poliisi abatono abaabaddewo batunula butunuzi tebalina kyebakola.
Kadaga eyayogeredde eddakiika nga 20 yasabye abantu bamulonde olw’obukulembezebwe obulungi obulwaniridde eddembe ly’abakyala omuli okukomya okubakomala, okuyisa etteeka erikwata ku bisiyaga n’ebirala.
Weyamaze okwogera era abantu bamwebunguluddde nabazina amazina okumuzza mu ntebe ye.
Nga bino tebinnabaawo Mukula naye ayagala okulondebwa ku bumyuka bwa Ssentebe wa NRM okuva mu kitundu k’ebuvanjuba yasabye abantu okugezaako okussa ebiragiro bya Covid-19 mu nkola.
Akulira okulwanyisa Covid-19 mu kitundu kye Acholi, Brigadier General Bonny Bamwiseki, yasabye abantu okufaayo okussa mu nkola ebiragiro bya ministule byonna.
URN