Abeegwanyizza okutuula ku kakiiko akakulu aka NRM akamanyiddwa nga CEC ku Lwokusatu basiibye booogereza balonzi babayiire obululu nga bayita ku mutimbagano ne ttivi ez’enjawulo.
Kampeyini zino ezibadde ku mutimbagano ne Ttivi, zibadde zikubirizibwa Ssabawandiisi w’ekibiina Kasule Lumumba, Dayireekita w’ebyamawulire Emmanuel Dombo ne Hajji Moses Kigongo akikkiridde Ssentebe w’ ekibiina Yoweri Museveni.
Abeesimbyewo obwedda baweebwa eddakiika 5 – 8 okumatiza abalonzi nga balaga byebagenda okubakolera n’okusaba babalonde.
Hajji Kigongo akomye ku Minisita Namuganza obutalumba Sipiika Kadaga nga banoonya akalulu
Bya Musasi Waffe
Omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Moses Kigongo, awaliriziddwa okulagira eyeesimbyewo ku kifo ky’Omumyuka wa ssentebe omukyala Persis Namuganza obutalumba Sipiika Rebecca Kadaga bwebabadde bannoonya akalulu leero ku Lwokusatu ku kitebe ky’ekibiina.
Minisita Persis Namuganza bweyakutte akazindaalo teyalumye mu bigambo nalangira Sipiika Kadaga obutabeera muwulize eri Ssentebe w’ekibiina.
“Bwobeera ku kakiiko ka CEC olina okubeera omuwulize eri pulezidenti n’ekibiina. Mbasuubizza bwemunoonda, nja kukolaganira wamu ne bannange ku NEC so ssi nga Sipiika Kadaga” Namuganza bwagambye.
Kino kyawalirizza Dayireekita w’ebyempuliziganya mu NRM Emmanuel Dombo, okumukomako wabula nga ayongera kulanda kino kyaletedde Kigongo okukangula ku ddoboozi.
“Njagala okulungamya, bwojja wano, weyogereko era obuulire n’abantu byogenda okubakolera so ssi kulumba balala”,Kigongo bwalambise.
Oluvanyuma ono yasuubizza nga bwajja okuzza empisa mu kibiina singa anaaba awereddwa omukisa okuweereza.
Guno ssi gwe mulundi ogusoose Namuganza okwambalira Kadaga nga n’ omwezi oguwedde bweyakyala ku BBS Terefayina ku pulogullamu ya ‘Amaaso Ku Ggawanga’ yasaba abalonzi obutamuwa kalulu kubanga yali ayisa mu pulezidenti olugaayu.
Namuganza yategeeza nti, “Sipiika Kadaga yegatta naba Opozisoni era bamwagala nnyo, ensalawo y’ekibiina kyaffe tagiwa kitibwa”
Kinajjukirwa nti ekibiina kyasalawo okulonda kwa CEC kulekebwe ku bifo eby’enkizo era nga abeesimbyewo abalala okuli ba Ssentebe b’ebitundu naabo abavuganya ku bifo ebituula ku CEC bonna bawereddwa omukisa okubaako kyebagamba abalonzi.

Hajji Kigongo nga ono yeesimbyewo ku ky’omumyuka wa Ssentebe asooka mu ggwanga yagambye nti “ Ndi wano okubeeyanjulira era mbasabe munzikkirize mbaweereze nga bulijjo. Natandika obukiiko obw’enjawulo nga tukyali munsiko n’obukiiko bw’ebyalo era neebaza ssentebe waffe olw’ amagezi amalungi gatuwadde.”
Ono yasiimye banne ababadde bamwesimbyeko kusalawo abasazeewo okumulekera nti kino kirungi kubanga kyongera okuzimba demokulaasiya munda mu kibiina.
Ku lulwe, Sipiika Rebecca Kadaga nga ayagala kya mumyuka ow’okubiri ow’abakyala yategeezezza nga bwatunze eggwanga n’okulitumbula mu nsi ez’enjawulo era nga aliko n’amateeka gayambye okubaga era nasaba bamuwe omukisa.
Munne bwebali ku mbiranye, Minisita bweyafunye akazindaalo yatandikiddewo okulumba Kadaga nategeeza nga bwatawa Ssentebe wa kibiina kitibwa nga akola emirimu gye nga Sipiika.
Ono Hajji Kigongo yamukomyeko mangu namusaba yeemalire ku bintu byagenda okukolera abantu so ssi kulumba munne.
Namuganza oluvanyuma yategeezezza nti singa bamulonda agenda kulaba nga azza empisa mu kibiina.
“Twetaaga omuntu asobola okutalaaga eggwanga, JaneFrances asobola okubuukira boda ne bbaasi natuula mu kitundu kyonna eky’eggwanga. Mulonde omukulembeze ow’ekiseera kyamwe era nzijjidde mu bwetowaze n’okuwa ekitibwa abakulu mukibiina” Jane Francis nga naye ayagala kya mumyuka ow’okubiri owa bakyala bweyanyonyodde.
Ku mumyuka wa Ssentebe mu Buganda omubak Godfrey Kiwanda yasabye abantu bamulonde kubanga akoze kinene okulaba nga NRM enywera mu Buganda. Okuvuganya okwamanyi kuli wakati wa Kiwanda ne Moses Kalwanga Kaliisa.
Ate ye Capt. Mike Mukula nga ayagala kubeera mumyuka wa ssentebe e Buvanjuba yanyonyodde nga bwakoze ennyo okunyweza ekibiina mukitundu ekyo era nga ne Opozisoni eyali eyamanyi yaginafuya.
Munne bwebali ku mbiranye Omuyindi munnayuganda Sanjay, yalambuludde nga bwakulidde mu misingi gy’ekibiina era nga ayise mu bukiiko bw’abavubuka era nga akadde konna abadde muwulize eri ekibiina era okujja kwe kulaga nga NRM bweri enywevu okutuuka wansi mu bantu.
Nabavuganya okumyuka Ssentebe mubitundu ebirala nabo bawereddwa omukisa okubaako kyebasaba abalonzi.