Bya Ssemakula john
Wakiso
Alina omumuli gw’ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT), Gen. Mugisha Muntu, akoowodde abawagizi ba NRM abaagaliza Uganda ebirungi, bayambeko mu kusindiikiriza Pulezidenti Museveni ave mu buyinza.
Muntu yategeezezza nti abantu bonna ababadde bakyawagira Pulezidenti Museveni ekintu eky’omugaso kye basobola okukolera eggwanga, kwe kulaba nga bamuwummuza kubanga eggwanga lyonna alitadde ku bunkenke olwo butayagala kuta buyinza.
Okusaba kuno Muntu yakukoledde Mende mu Wakiso olunaku lw’eggulo ng’anoonya obululu obunaamuwanguza akalulu k’Obwapulezidenti aka 2021.
“Gen. Museveni bw’awummula amagye gajja kuba nga gawummudde, poliisi n’ebitongole by’okwerinda bijja kuba nga biwummudde, kubanga ensobi zonna ze bakola kati bazikolera ku biragiro bya Pulezidenti Museveni.” Mugisha Muntu bw’agambye.
Muntu yawabudde nti abantu e Libya baali mu bulamu bulungi nnyo naye bwe baalemwa okukyusa obukulembeze mu mirembe, ebintu byayonooneka, n’asaba aba NRM okubayambako banunule eggwanga.
Eyaduumirako amagye, Gen. Muntu yagambye nti wadde bava mu kitundu kye kimu ne Museveni, naye bawukanya enzikiriza n’endowooza zaabwe kubanga buli omu ebintu abiraba bulala.
“Saalina lutalo naye ng’omuntu era singa nkyali mu NRM kubanga sirwanangako naye ng’omuntu, naye tetukkiriziganya mu nkola. Era waliwo ambuuzizza e Buloba nti Muntu ggwe ne Museveni nga muva wamu, kituufu naye ekitwawula y’enzikiriza n’endowooza.” Muntu bwe yannyonnyodde.
Ono yasabye bannayuganda buli omu okuwaayo ky’alina bayambeko ebibiina ebivuddeyo okununula eggwanga mu kaseera kano nga Pulezidenti Museveni aggyeeyo amaanyi gonna, okubusigaza.
Alina bbendera ya ANT ku kifo ky’omubaka wa Busiro East mu palamenti, Hamidah Nassimbwa, yasinzidde wano n’asaba abantu mu Busiro okubeesiga balonde abantu ANT b’ebawadde kuba bonna ba nsonga.