
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ekitongole kya Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda ekya Nnaabagereka Development Foundation n’ekitongole kya World Vision batadde omukono ku ndagaano empya okwongera okuyamba ku baana abanyigirizibwa okusobola okutumbula embeera zaabwe.
Omukolo guno guyindidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo ku Lwokutaano era wano Nnaabagereka Sylvia Nagginda w’asinzidde n’ategeeza nti kino bakikoze okwongera okuganyula abaana abanyigirizibwa ennyo mu Buganda ne Uganda.
Ku lwa Buganda, Minisita w’ebyobulamu n’embeera z’abantu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma y’ataddeko omukono ku lwa Buganda n’ekitongole kya Nnaabagereka ate akulira World Vision mu ggwanga Jayson Evans n’ateekako omukono.
Mu kwogerako kwe Nnaabagereka Sylvia Nagginda ategeezezza bakukola kyonna okulaba nti ebigendererwa by’omukago guno bituukirizibwa.
“Tubadde tukolagana ne World Vision era balina okubanyirivu mu kulabirira embeera z’abaana era tuli wano okulaba nti twongera okukolana nabo era kye tuvudde tuteeka omukono ku ndagaano okulaba nti tugenda mu maaso n’okukola ku bizibu ebikwatagana ku baana baffe ng’embuto, okusoma n’ebirala bingi,” Nnaabagereka bw’ategeezezza.
Minisita avunaanyizibwa ku mbeera z’abantu, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nti leero bayagadde okuddamu okwekenneenya endagaano yaabwe ne World Vision okusobola okulondoola ebibala byayo kuba bafaananya ebigendererwa.
Owek. Nankindu Kavuma alaze ebimu ku bituukiddwako olw’omukago guno nga basobodde okutuuka wansi mu masaza ag’enjawulo. Ono ategeezezza nti nga Buganda bakwatibwako nnyo ku nsonga y’abaana abafuna embuto nga tebanneetuuka ng’ekizibu kino kisinga Kyaggwe ne Busiro.
Ye omukungu wa World Vision, Suzan Lubega yeebazizza Obwakabaka olw’okuvaayo okuteekawo enjawulo mu ggwanga nga batumbula embeera z’abaana mu Buganda wadde ng’ekirwadde kya Corona kyatabula embeera naye kyongedde okweraga nti bingi ebisobola okutuukibwako nga bakolera wamu.
Lubega alaze okutya nti omuwendo gw’abaana abafunira embuto mu muggalo gwa covid 19 ogweyongera nakyo kyafuuka kizibu ky’amaanyi ku lwakyo n’awa eky’okulabirako kya Mukono ekizibu kino bye kisinze okubeera.
Annyonnyodde nti enkolagana eno yaakubayamba okwongera okulondoola omulimu gwe bakozeeko era n’alaga obumalirivu okulaba nti enkolagana eno egenda mu maaso.
Kinajjukirwa nti emyaka 2 egiyise ekitongole kya World Vision kyanyweza enkolagana yaakyo n’Obwakabaka bwa Buganda nga bayita mu kitongole kya Nnaabagereka Development Foundation eyali egendereddwamu okulwanyisa okutulugunya abaana mu masomero, okulwanyisa okuwanduka mu masomero, okusaddaakibwa kw’abaana n’ebirala bingi ebigwa mukkowe eryo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Maama Nnaabagereka, Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu, Minisita w’amawulire mu Bwakabaka, Owek. Noah Kiyimba n’abalala.









