
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Abayizi bannakibiina ki Nkobazambogo wonna mu ggwanga basabiddwa okunywerera ku bigendererwa by’ekibiina kino bwebaba baagala okutuuka ku bigendererwa byabwe.
Okusaba kuno kukoleddwa Omukiisi mu Lukiiko lwa Buganda Owek. Rashid Lukwago bw’abadde atongoza ekibiina kino ku ssomero lya Stena Hill Secondary School wano mu Kampala ku Lwokutaano.
Owek. Lukwago agamba nti ekiseera kituuse bakole buli kimu okumanyisa abayizi amakulu amekusifu agali mu kibiina kya Baganda nkobazambogo n’ebigendererwa byakyo.
Ono atenderezza nnyo emirimu egikolebwa Owek Bwanika naddalla ettofaali lyatadde ku byenjigiriza nga abangula abaana b’eggwanga okusobola okufuna ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.

Owek. Lukwago era yeeyamye okukola ennyo okuzza ebyo ebyali byasasika naddala mukibiina kino kisobole okuddamu okwettanirwa abayizi era n’okukola emirimu egyakitandisa.
Omutandisi w’essomero lino era Ssaabawolereza w’ Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika asabye abayizi abalondeddwa okuba abayiiya nga bali mu bukulembeze buno okusobola okubutwala mumaaso.
Kyokka ono ategeezezza nti Nkobazambogo lye bbanguliro ly’Obwakabaka erirambika omuntu kyanabeera mu ggwanga omuli obwerufu Saako nempisa mu ggwanga.
Ssentebe alondeddwa Mubiru Ashiraf yeeyamye okukola obutaweera okulaba nga atwala obukulembeze buno mu maaso era ekibiina kino akyagazise abalala.









