Bya Francis Ndugwa
Mmengo
Abavubuka ba Buganda abeegattira mu kibiina kya Nkobazambogo batadde poliisi y’eggwanga ku nninga, yeetondere Obwakabaka bwa Buganda olw’okukuba ttiyaggaasi mu mukolo ab’Embogo kwe baabadde beebaliza Katonda olw’obuweereza bwa Jjajja Kayiira Gajuule bwe yabaddeko ng’omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka.
Bino bibadde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe batuuzizza e Mmengo ku Mmande leero okulaga obutali bumativu bwabwe.
Bannankobazambogo bano nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina kino mu ggwanga, Nantamu Lazia, bategeezezza nti ebikolwa bino buli lukya byeyongera nga birina okubaako ekkomo.
“Engeri gyekiri nti ffe ggye lya Ssaabasajja Kabaka ezibizi, tugambye nti tetujja kusirikirayo, tulabula oyo yenna eyeetabye mu kikolwa kino okuvaayo yeetonde,” Nantamu bw’ategeezzeza
Basabye abantu bonna naddala mu Buganda okuboola era bavumirire omuntu yenna agezaako okutabaala Obuganda ng’atyoboola obuwangwa n’ennono.
Ate ye Muteesaasira Experito, agambye nti abantu bano balina okukimanya nti abavubuka ba Buganda bawerera ddala mu bungi nga singa enkola eno bagitwala mu maaso, bajja kubakunga baveeyo balage obutali bumativu bwabwe.
“Ffe nga eggye lya Ssaabasajja Kabaka ezibizi, tubagamba nti obudde musigazizza butono singa temuvaayo kwetonda, tugenda kuyita ne bannaffe abava ewala tusobole okusaba obwenkanya eri Obuganda,” Muteesaasira bw’ategeezezza.
Ssentebe Nantamu akozesezza akakisa kano okwebaza abavubuka abawulirizza ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka nebavaayo okwesimbawo ku bifo by’obukulembeze era n’asaba n’abalala okukola kye kimu.
Bino we bijjidde ng’olunaku lw’eggulo Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga yavuddeyo n’avumirira ekikolwa kino n’ategeeza nti ekiggwa kiringa kkanisa nga buli omu ayanirizibwa awatali kusosola mu byabufuzi oba myaka.