Bya Saava Kevins Kanyike
Mirembe – Kyaggwe
Bazzukulu ba Kyeyune e Mirembe abeddira Nakinsige balamaze ku butaka bwabwe obusangibwa mu ggombolola Mutuba 1 Nakisunga mu ssaza ly’e Kyaggwe era amasiga agawerera ddala 17 getabye butereevu mu mikolo gy’obuwangwa n’okulambula ebimu ku bifo by’ennono ku kika kino nga bakulemberwamu essiga lya Kazibwe.

Omukolo guno gutegekeddwa essiga lya Kazibwe wansi w’omulamwa; “Okunnyikiza ennono mu maka nga empagi enkulu mu kugunjula abaana ba Buganda”.
Bw’abadde ayogerako eri bazzukulu be, akulira ekika kya Nakinsige, Omutaka Kyeyune Mayega Fred afalaasidde bazzukulu be okukulembeza obumu mu mirimu gy’ekika basobole okutuuka ku buwanguzi.
“Wano emirimu gy’Ekika tugikolera wamu era saagala mutye kuba tukola ffena era abalina obusobozi okukolera ekika kyo kikolere kikulaakulane” Omutaka Kyeyune. Ono asabye bazzukulu be okuvaayo okwenyigira mu nteekateeka ze’kika kya Nakinsige zonna kuba kya kubaweesa ekitiibwa mu maaso g’ebika ebirala.
Omukulu w’ekika ky’e Nkerebwe Omutaka Kidimbo Dr. Grace Kizito ku lw’Oluliiko olukulembera Abataka abakulu ab’Obusolya, asabye bazzukulu ba Kyeyune aba Nakinsige okukuuma omutindo mu mirimu gy’ekika wamu n’emirimu gyabwe nga abazzukulu. Ono abasabye okuba abayiiya nga bayiiyiza ekika kyabwe ebirungi ebibateeka ku mwanjo nga ekika.
Katikkiro w’ekika kya Nakinsige Noah Ssekirembeka alaze nti ekika kibanzeewo pulojekiti ezenjawo okuli okulunda ente, embuzi ne nkoko kwossa n’emmwanyi ky’anyonyodde nti pulojekiti zisitudde omutindo gw’ekika.
Maneja wa tiimu y’ekika kya Nakinsige Hajj Rajab Ssebulime ayanjulidde bazzukulu banne ebifa ku ttimu y’ekika nategeza nga bwe basumusemu mu mpaka z’omupiira gwe kika kyokka n’abasaba okwongera okuwagira ttiimu yabwe omwaka ogujja n’essuubi ly’okutwala engabo.

Okulamaga ku butaka bw’ebika y’emu ku nkola esembeza abazzukulu eri bajjajjabwe mu bika wamu n’okutema empenda ez’enjawulo ezikulakulanya ebika byabwe.









