Bya Stephen Kulubasi
Bulange -Mmengo
Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwagga Mugumbuule, asiimye abakulembeze n’abatuuze b’eggombolola ya Kabaka eya Mutuba I – Mpigi mu Mawokota olw’okujjumbira enteekateeka y’okutwalira Nnyinimu Amakula.
Bw’abadde atikkula Amakula gano mu Bimuli bya Bulange olwaleero ku Mmande, Owek. Luwagga, abatenderezza olw’okulaga obuvunaanyizibwa mu kwanukula Omulanga gwa Ssaabasajja ogw’okukubiriza abantu be okukola n’abasaba okugutwala mu maaso.
“Bye muleese byonna biraga nti muli banyiikivu mu bye mukola era mwebale kubanga kino kye kisaanidde okukolebwa buli muganda.” Owek. Luwagga bwe yategeezezza n’ayongerako nti ebintu ebitwalibwa Embuga, Beene by’akozesa okugabula Obuganda n’okulabirira abantu be.
Ono era asabye abantu ba Buganda okwongera okwewala obulwadde bwa Siriimu wamu ne Ssennyiga kolona. Asabye abantu okunyiikira okukola ate n’abakulembeze abaakawangula mu kalulu akawedde n’abakuutira okutuukiriza bye basuubiza okukolera abantu.
Bw’abadde ayaniriza bannamawokota, Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Owek. Luutu Moses, abeebazizza okutuukiriza ennono eno erudde mu Buganda, wabula n’abajjukiza nti abantu ba Buganda be balina obuvunaanyizibwa okulabirira Ssaabasajja Kabaka kubanga Kabaka tagenda mu butale.
Owek. Luutu asinzidde wano n’agugumbula abagufudde omulimu okwanika obuziina bwa Buganda nga kwe batadde n’okukonjera okutagambika n’abasaba okukyusaamu.
Wano anokoddeyo ebintu bisantu omuli ensonyi, okuzibira ebyama n’empisa, n’ategeeza nti ebyo buli muganda omutuufu asaanidde okuba nabyo era n’avumirira abatabirina nti babeera baseesetuse.
“Omuntu bw’aba asobola okwasanguza obulwadde bwa nnyina oba obwakitaawe, n’abutwala ne ku ttivvi oba ku mitimbagano, Obuganda bwe bubaako akabuuza era abeera aseesetuse.” Owek. Luutu bwe yakkaatirizza