Bya Ssemakula John
Kampala
Ettendekero lya Ssaabasajja erya Muteesa I Royal University likubiddwa enkata y’ebitabo ebisobye mu bikuumi bitaano ng’emu ku nteekateeka ey’okutumbula ebyenjigiriza mu ttendekero lino.
Enkata eno ebaweereddwa abamu ku bapulofeesa abaasooka okusomera ku ssettendekero ono nga bayambibwako ensawo y’Obwakabaka ey’ebyenjigiriza naye nga abangi ku bano mu kiseera kino bawangaalira mu mawanga g’ebweru.
Bano bakung’aanyizza ebitabo ebisobye mu bitaano (500) era ng’enteekateeka eno ekulembeddwamu Prof. Joseph Nsereko.
Prof. Nsereko asabye Obwakabaka okulwana okulaba nga buteekawo etterekero ly’ebitabo kisobozese okukuuma ebyafaayo n’ebyo ebituuse ku Buganda wamu n’abantu baayo ebibeera biteekeddwa mu buwandiike.
Ate ye Prof. Prosper Nkonge nga y’omu ku baayitira mu ttendekero lino asiimye Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okubawa omukisa era n’okuteekawo ensawo eno eyabayamba okufuuka abantu ab’omugaso mu ggwanga.
Okusinziira ku Nsereko ebimu ku bitabo bino kuliko ebisomesa eby’obufuuzi , ebyenfuna, ebirimu ensonga ezikwata ku Buganda , ebyafaayo , obukulembeze , ebyamateeka n’ebyobuliimi era nga biteekeddwa ku ttabi lya Ssettendekero ono ery’e Kakeeka- Mmengo.
Omumyuka wa Cansala ku Ssettendekero ono, Prof. Vincent Kakembo, yeebazizza olw’okuweebwa ebitabo bino era n’akakasa nti bijjidde mu kiseera kituufu ng’abamu ku bayizi baabwe baakakomawo ku ssomero n’alaga nti byakuyamba okwongera obukugu mu bayizi.