Bya Ssemakula John ne Ronald Mukasa
Naguru – Kyaddondo
Abantu ab’enjawulo omuli bannamateeka, baminisita mu Gavumenti eyawakati n’emikwano gya Gen. Muhoozi Kainerugaba bakung’aanye ku makya g’Olwokusatu nebalangirira ng’ekisinde kyabwe ki MK Movement bwekyeyubudde nekifuuka Patriotic League of Uganda.
Omukolo guno guyindidde Naguru mu Kampala era okusinziira ku kakiiko ak’okuntikko mu kisinde kino era abategesi bannyonnyodde nti bagenda kutandikira ku kyakunga bannayuganda baddemu okwagala ensi yabwe.
“Ffe aba MK Movement tweyubudde netufuna erinnya eppya n’obuvunaanyizibwa obuggya n’ekigendererwa ky’okuddamu okwagazisa bannayuganda ensi yabwe, babeere bannansi abalungi, tubakuume n’okulwanyisa enguzi wamu n’okumala gadiibuda ssente z’omuwi w’omusolo,” Ekiwandiiko kyebafulumizza bwekisomye.
Olukung’aana luno lwetabiddwamu Minisita Hon. Frank Tumwebaze, Minisita Haruna Kasolo ne Minisita Godfrey Kabbyanga Baluku, wamu n’eyali Minisita Mike Mukula .
Okweyubula kwe kisinde kino kiwadde bannakisinde era abawagizi ba Gen. Muhoozi obukuumi mu mateeka era nga kati basobola bulungi okwenyigira mu nteekateeka z’okukunga abantu.
Bino webijjidde nga Gen. Muhoozi ye muwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Museveni ku bikwekweto ebyenjawulo era nga waliwo nebiyitingana nti ayinza okwesimbawo mu kalulu ka 2026.
Abamu ku beetabye mu lukungaana luno omuli n’abayizi okuva mu ssetendekero ez’enjawulo bagamba nti kino kijjidde mukiseera ng’ eggwanga lyetaaga enkyukakyuka kuba bingi ebisobye.
Wabula Gen. Muhoozi Kainerugaba talabiseeko ku mukolo guno wabula bannakisinde kino bakakasizza nga bwali omwetegefu okwesimbawo addire kitaawe Yoweri Kaguta Museveni mu bigere mu 2026.