Bya Benard Ssengoonzi
Empaka z’ekikopo ekya English Premier League zisemberedde okukomekkerezebwa era nga wasigadde empiira esatu gyokka oluvannyuma lw’okujiwumuza olwa covid-19 mu Bungereza.
Mungeri y’emu n’olutalo olw’okulwanira ekifo ekyokuna abasooka nga Chelsea, Leicester city ne Manchester United bakyalwana okufunako ababari abasigadde oluvannyuma lwa Manchester city ne Liverpool okubeera nga bbo baayitawo dda okwegatta mumpaka eza UEFA champions League ezigenda okuzannyibwa season ejja.
Wabula oluvannyuma lwa team ya Chelsea okukubibwa Sheffield goolo 3-0 ku nkomerero ya wiiki ewedde olunaku lwajjo yazze engulu neyanukula essala zabawagizi ng’ekuba Norwich city goolo 1-0 nga yateebeddwa Olivia Giroud.
Ono goolo eno yagitebesezza mutwe mu ddakiika essatu ezaayongeddwamu.
Goolo ya Olivia Giroud newankubadde nga yabadde yakikeerezi naye yeyabadde yetaagisa okuwa tiimu ya Chelsea omukisa okubeera nga yenywereza mukifo eky’okusatu wamu ne mu bana abasooka.
Abawagizi ba Manchester United wamu ne Leicester city baawulidde obujja olwa Chelsea okufuna obuwanguzi.
Ekimeeza kiyimiridde bwekiti:
Liverpool 93
Manchester city 72
Chelsea 63
Leicester city 59
Manchester United 59
Wolver Hampton 55
Era bw’otunura ku kimeeza ekyo olowooza Manchester United wamu ne Leicester city balina omukisa gwonna okwegatta ku bana abasooka.