Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Aba Kampala Hash Harrier badduse emisinde gy’okukuza Amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 69 nga bweri enkola yaabwe.
Bano badduka oluvannyuma lwa ssabbiiti emu ng’emikolo emikulu giwedde .
Bw’abadde abasimbula Kamalabyonna Charles Peter Mayiga abasabye okunyiikira okwebuulirira ku bulwadde bwa mukenenya era bafube okulaba nga bayambako okukomya okusaasaana kw’obulwadde buno.
Banna Kampala Hash Harrier beebazizza Katonda olw’obulamu bwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka era nebeeyama okwongera okutambulira awamu n’Obwakabaka bwa Buganda okwongera okulaakulana.
Bano oluvannyuma lw’okudduka basaze kkeeki y’Amazaalibwa g’Omutanda ag’emyaka okwongera okujaguza wansi w’omulamwa,”Abaami tubeere basaale okulwanyisa Mukenenya kitaase tutaase omwana ow’obuwala.’