Bya Ssemakula Francis
Kampala
Abatujju ba Islamic State beewaanye okubeera emabega w’obutujju bwa bbomu obwafiiridde omuntu omu ku Lwomukaaga ekiro e Komamboga mu Kampala.
Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Reuters, bano obubaka obukakasa kino baabutadde ku mukutu gwabwe ogwa Telegram mu kiro kya Ssande.
Abatujju bannyonnyodde nti abamu ku bammemba b’ekibinja kyabwe be baanasudde bbomu eno mu Kampala awabadde wakung’aanidde bannakibiina kya “members and spies of the Crusader Ugandan government” mu Kampala.
Bbomu eno eyabadde ejjudde emisumaali yategeddwa mu kimu ku bifo omuliirwa ennyama y’embizzi era omutundibwa n’omwenge era poliisi yannyonnyodde ku Ssande nti yatandikiddewo okunoonyereza ku butemu buno.
Ebyafuniddwako olunaku lweggulo byalaze nti abasajja basatu abeefudde bakasitoma, baagenze mu kifo kino nga balina akaveera ke baalese wansi w’emmeeza era waayiseewo akaseera katono ababaddewo ne bawulira ekibwatuka.
Poliisi egamba nti eyafudde yabadde muweereza mu kifo kino ow’emyaka 20 era nga waliwo n’abantu abalala basatu abaalumiziddwa ebyensusso. Wabula bano bagamba nti abaakoze kino bakolera munda mu ggwanga naye nga balina akakwate ku bibinja by’abatujju ebyamaanyi.
Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni yasinzidde ku mukutu gwe ogwa Twitter n’avumirira ekikola kino era n’agumya bannayuganda nti abali emabega w’ekikolwa kino, bagenda kukwatibwa bavunaanibwe.
Kinajjukirwa nti abatujju ba Al -Shabaab baalumba Uganda mu mwaka gwa 2010 ne batta abantu abaawerako mu bulumbaganyi bwa bbomu era baategeeza nti kino baali bakikoze olwa Uganda okusindika amagye gaayo mu Somalia.