Bya Musasi Waffe
Najjanankumbi
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/nga.jpg)
Ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), kiweze obutakkiriza bukwakkulizo bwatereddwawo akakiiko k’ebyokulonda eri abaagala okukuba enkungaana n’okunoonya akalulu mu kulonda kwa 2021 okubindabinda.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi mu Kampala omwogezi w’ekibiina kino Ssemujju Ibrahim Nganda agambye nti amateeka akakiiko k’ebyokulonda gamenya ssemateeka w’ekibiina kyabwe nga tebasobola kugagoberera.
Ssemujju yagasseeko nti, “ Kuno okuggira kugenda kukola ku ba Opozisoni bokka, tekugenda kukwata ku ba NRM, bbo bagenda kukolanga enkungaana, ffe nga batusibidde ewaka.
Nganda yanyonyodde nti mubitundu by’eggwanga okuli; Lwengo, Masaka ne Mpigi aba NRM bakolera ddala enkungaana nga ne poliisi ebatunuulidde awatali bakomako.
Ono yagambye nti tebagenda kukkiriza kubeera mperekeze mu kalulu ka 2021 wabula buli lunaku aba NRM lwebanakuba olukungaana nga nabo bakubawo olwabwe.
Kinajjukirwa nti, Omulamuzi Simon Byabakama akulira akakiiko k’ebyokulonda, yavaayo nekayisa amateeka n’ebilagiro ebirina okugobererwa nga abannoonya akalulu bakuba enkungaana mu nkola eri ’Scientific’ okwewala ekirwadde ki COVID19.
Ebilagiro bilagira anaakuba olukungaana okulaba nga ekifo kyalonze kirina amazzi n’eddagala eritta akawuka (Sanitizers). Obutebe n’emmeeza biyisiddwako eddagala eritta akawuka ate nokufuba okulaba nga buli ayingira alina akakookolo (Face Mask).
Bano balina okusooka okutegeeza poliisi nejja okulaba oba amateeka gagobereddwa nga olukungaana terunaba kutuuzibwa.
Ssemujju yagambye nti poliisi ya Uganda bagimanyi bwekituuka ku Opozisoni era nga tebasobola kugyesiga.
Bino webigidde nga Ssaabawandiisi wa NRM Kasule Lumumba, yakavaayo nasaba poliisi ekwate aba NRM abajeemedde ebiragiro bino wabula Ssemujju agamba nti ono agezaako kulaga nti amateeka tegeekubira naye nga ekituufu aba opozisoni bebanyigiriza.
Mu birala, FDC esabye abantu bonna abagala okwesimbawo okukikirira Konsitityensi empya n’ebibuga okunona empapula ku kitebe era nga mubifo bino kuliko nekya Loodimeeya wa Kampala.