Bya Musasi Waffe
Ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) kiyise olukiiko bukubirire okuteesa ku kutuluganyizibwa okwabamu ku bammemba babwe munnaku eziyise. Ng’ayogerako ne Bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kino e Najjanankumbi, Ssemujju Ibrahim Nganda, ng’ono ye mwogezi w’ekibiina kino, yategeezezza nti akiiko ak’okuntikko akatwala ekibiina kino nga kakulirwa Patrick Amuriat Oboi era ng’ono ye Ssenkaggale w’ekibiina kakutuula ku lw’okutano luno nga 15 Musenene. “Ekibiina kigenda kusalawo kiki eky’okukolwa oluvanyuma lwa poliisi okutulugunya abantu baffe okusooka e Kireka bwebajulako katono okutta eyali omukulembeze waffe Dr Kizza Besigye wamu n’okulumba abakazi b’ekibiina kukitebe kyaffe nebabafuuyira omukka ogw’obutwa,” Ssemujju bweyagambye. Yagaseeko nti nga bwebalinda ekibiina kisalewo, bavumirira ebikolwa bya poliisi n’ebitongole bye’byokwerinda ebirala ebigufudde omuze okutulugunya abantu ng’omwo mwotwalidde ne bannamawulire. Yagambye bagenda kugenda mumaaso nga bawandiika abasirikale bonna abeenyigira mukutulugunya abantu okulaba nga babonerezebwa. Ebyo nga bikyalyawo, FDC era yalangiridde nga bwegenda okujaguza nga bwegiweze emyaka 15 bukyanga kibiina kino kitandikibwawo nga 15 Ntenvu 2004. Emikolo gigenda kubeera mu kisaawe e Namboole.