Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Patrick Oboi Amuriat, atabukidde gavumenti olw’okukwata obubi enteekateeka y’okugabira abantu ssente za COVID-19 z’agamba nti ziweebwa beesobola olwo abanaku ne basigala nga tebalina kye balya.
Bino Amuriat abyogeredde ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi gy’akubye olukung’aana lwa bannamawulire ku Mmande okwogera ku biriwo.
“Ekirowoozo ky’okugabira abantu abakoseddwa omuggalo emitwalo 10 kyali kyaffe. Ekizibu gavumenti kati etandise okukidibaga. Ssente baziwa bantu bakyamu mu kifo ky’abawejjere.” Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat bw’ategeezezza.
Amuriat agamba nti olwokuba gavumenti temanyi nsibuko ya kirowoozo kino eremeddwa okukiggyamu eky’omugaso.
Ono ategeezezza nti emitwalo 10 ssente ntono nnyo okuweebwa abantu omulundi ogumu, kyokka nga ssente nnyingi zikyagenda maaso n’okubbibwa abanene mu gavumenti.
Oboi era annyonnyodde nti abantu abafunye ku ssente zino beebo abawagizi, abaali bagenti ba Museveni mu kalulu akawedde awamu n’abawagizi b’ekibiina kya National Resistance Movement, ky’agamba nti kikyamu.
Aba FDC basabye gavumenti okuziba emiwaatwa gyonna egiriwo, ssente zisobole okutuuka ku bantu abatuufu abalina okuzifuna.
Bino we bijjidde nga Ssaabaminisita Robina Nabbanja yaakamala okutongoza enteekateeka y’okugabira abantu abanaku ssente okubayambako mu muggalo gwe tulimu wabula ng’agamu ku mannya agali ku nkalala z’abalina okuzifuna galiko akabuuza.