Abakulembeze b’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya DP mu Buddu basazeewo obuwagizi bwabwe bonna okubuzza mu kibiina ekipya ekya National Unity Platform Party, ekikulemberwa omubaka w’essaza ly’e Kyaddondo ey’obuvanjuba Robert Kyagulanyi amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine.
Abakulembeze ba DP mu Masaka beeweze okuwagira ne ssekuwagira ekibiina ekipya era bakiyambe okutuuka mu bukulembeze.
Bonny Stephen Kasujja, akulira DP mu kibuga Masaka yagambye nti balina abakulembeze okuviira ddala mu byalo era bano baakubayamba okukunga abawagizi baabwe okuwagira NUP.
Ono yagambye kaakati batandise kaweefube w’okuzuula abaneesimbawo ku tiketi yaabwe.
Joseph Ddungu omu ku bakunzi ba DP yagambye newankubadde bakyayagala ekibiina kyabwe, omulundi guno bagenda kuwagira NUP kubanga ebigendererwa by’ekibiina kyabwe tebitegeerekeka.