Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ntambula y’ennyonyi mu ggwanga ekya ‘Civil Aviation Authority (CAA), kirangiridde nti abantu abawerekera oba okunona abava ku nnyonyi oba okugirinnya tebalina kusukka babiri nga ne ddereeva kwali.
“Okuva ku Lwomukaaga nga December 19, 2020, abatuuka n’abalinnya ennyonyi nga bakozesa ekisaawe ky’Entebbe balina okuwerekebwako oba okunonebwa abantu abatasukka babiri nga ne ddereeva kwali, okwewala omujjuzo ku kisaawe.” Obubaka okuva mu bakulira ekisaawe kino bwe busomye.
Mu bubaka buno obwaweerezeddwa eri abantu, CAA ennyonnyodde nti okuva ekisaawe lwe kyaggulwawo eri abasaabaze, omuwendo gw’abantu be bafuna buli lunaku gweyongera ekiyinza okwongeza ensaasaana ya Ssennyiga Corona.
Bano bagamba nti olw’abantu abaweze waliwo obwetaavu bw’okuyisa ebiragiro ebipya eri abantu.
CAA egamba nti emmotoka zonna ezinaabaamu omuwendo gw’abantu okusukka ogulagiddwa tezijja kukkirizibwa.
Abasitula okulinnya ennyonyo, CAA egamba nti bano balina okuba n’obukakafu bwa ssaawa 120 obukakasa nti tebalina kirwadde kya Ssennyiga Corona.
Abatuuka ku kisaawe Entebbe nabo balina okubeera ne Satifikeeti eziraga nti tebalina Ssennyiga Corona okuva mu Kkeberero mu ggwanga gye bava era nayo nga ya ssaawa 120 okuva lwe balinnye ku nnyonyi.