Bya Ronald Mukasa
Kampala
Ttiimu z’ omuzannyo gwa Rugby 7s okuli ey’ Abakyala eyitibwa Avengers awamu ne Walukuba Barbarians ey’ Abaami zisitukidde mu bikopo ebyategekeddwa okujjukira bwegiweze emyaka 31 nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alamula abantu be.
Empaka zino zizannyiddwa leero ku Lwomukaaga wali mu kisaawe kya Muteesa II Stadium e Wankulukuku.
Bw’ abadde akwasa abawanguzi ebirabo, Minisita w’ Abavubuka, Ebyemizannyo n’ Ebitone, Owek. Robert Sserwanga yeebazizza bannamukago abawagidde empaka zino wamu ne Nnyinimu Ssaabasajja olw’ okusiima omuzannyo guno gusoosowazibwe olw’ emiganyulo egigulimu omuli okutumbula ebitone, okuwa abalala omukisa nokuleetawo enkulaakulana.
Mungeri ey’enjawulo Minisita Sserwanga yeebazizza Omulangira David Kintu Wasjja ng’ ono ye muyima wa Rugby Union olw’ okuteekateeka empaka zino zagamba nti kabonero kakulu mu bikujjuko by’ okujjukira Amatikkira aga 31.
Ye Omuyima wa Rugby Union, David Kintu Wasajja yeebazizza abamuyambyeko okutegeka empaka zino olw’ omutindo ogwoleseddwa ttiimu ez’enjawulo ezeetabye mu mpaka zino.
Ttiimu ya Walukuba nga yeyawangudde mu baami eweereddwa obukadde 5, Rams ekutte ekyokubiri neefuna obukadde 2 n’ekitundu ate Pirates nefuna akakadde kamu n’ekitundu. Eyawangudde mu bakyala eya Avengers efunye obukadde 2 ate Lady Pacers nefuna akakadde kamu nekitundu ate abakutte eky’ okusatu aba Songa Ewes nebaweebwa emitwalo 80.
Empaka zino zeetabiddwako ttiimu ez’enjawulo okuli; Kobs, Walukuba Barbarians, Pirates, Life Guard, Rams, Busiro Buffaloes, Mongers ate mu bakyala kubaddeko; Avengers, Lady Pacers ne Ewes.