
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Abaddukanya eddwaliro lya St. Joseph’s Hopital e Kitovu beeyanzizza nnyo Ssaabasasajja Kabaka olwokulikwasizaako okutereeza ebyobulamu mu ttunduttundu lye Masaka nga alwanyisa endwadde nga Okutonnya mu bakyala, Nnalubiri n’ebbula ly’omusaayi n’endala okusobola okutaasa abantu be.
Okwebaza kuno bakuyisiza mu Jinja ery’omuwendo lyebakwasizza Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kisenge kya Kabineeti wano ku mbuga enkulu Bulange Mengo ku Lwokuna.
“Njagala okubeebaza olw’okujja okusiima Ssaabajja Kabaka,Omuganda agamba nti entasiima ebula agiwa, mwebale. Ekimu ku bintu byetusaana okusomesa ensangi zino kwekusiima,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Era wano Katikkiro Mayiga wasinzidde nasaba gavumenti bweba eyagala okutuuka mu lusse lw’ amawanga agali yaddeyaddeko okufaayo ennyo ku byobulamu bwabantu naddala amalwaliro kubanga bebasobola okulitusaayo.
Owek. Mayiga agamba nti ebyobulamu okuba nga birungi kiyambako nnyo okumalawo ebizibu omuli obwavu n’ebirala naalaga nti nobutamanya busaasanya nnyo endwadde nga sirimu weyabeerera mu Buddu ne Kkooki ebitundu bino byadda nnyo emabega.
Ono yeeyamye okuyambako okulaba nti eddwaliro lino lisobola okufuna ekifo ekigazi webasobola okukuumira omusaayi kuba gwetaagibwa nnyo abantu ab’enjawulo.
Owek. Mayiga asinzidde wano nasaba abantu ba Nnyinimu okuvaayo okuyambako eddwaliro lino okufuna obukadde 900 ezeetaagibwa okukola ekifo kino.
Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bukyali butereevu mu nsonga y’okuzimba waadi ku ddwaliro lye Nkozi awajanjabibwa abagudde ku bubenje kyokka nasaba abantu okuvaayo okukwasizaako abe Kitovu.
Ssentebe wa Bboodi y’eddwaliro lye Kitovu, Rev. Simon Peter Kamulegeya annyonnyodde nti mu nsiisira 82 zebaakakola, abakyala abasoba mu 6000 bayambiddwa okuvvuunuka ekizibu ky’okutonnya , abantu 5701 bebayambiddwa omwaka guno 2023 kyokka disitulikiti 7 ziyambiddwako eddwalairo lye kitovu okuyamba abantu ku kizibu kino.

Akulira eddwaliro lino Dr. Alfred Lumala ategeezezza nti etterekero ly’omusaayi lwebalina mu kiseera kino lyeligabira amalwaliro mu disitulikiti zonna ezeetoloddewo omusaayi nga ekifo kyebalina mukiseera kino kikyali kifunda.
Dr. Lumala agamba nti baagala okutta omukago n’Obwakabaka okusobola okutaasa abantu b’Omutanda abali mukitundu kino basobole okufuna omusaayi mu kadde konna kebagwetaagiramu.
Omukolo guno gwetabiddwako gwetabiddwako Minisita wekikula kyabantu omugwa ebyobulamu nebyenjigiriza wamu ne Woofiisi ya Nnaabagereka Owek. Cotilda Nakate, Owek. Noah Kiyimba minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’ensonga mu wofiisi ya Katikkiro ezenjawulo, Omuk. Rowland Ssebuufu Ssenkulu wa BICUL, omuteesiteesi omukulu mu wofiisi ya Katikkiro Omuk. Josephine Nantege, Ppookino Jude Muleke n’abantu abalala.









