• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine: Gen Lokech abadde omujaasi omulungi eyasalawo aweereze gavumenti enkyamu

Gambuuze by Gambuuze
August 23, 2021
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine: Gen Lokech abadde omujaasi omulungi eyasalawo aweereze gavumenti enkyamu
0
SHARES
53
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga  Bobi Wine, akungubagidde abadde omumyuka wa Ssaabaduumizi wa poliisi, Maj Gen. Paul Lokech, gw’ayogeddeko ng’omujaasi omulungi eyandibadde ekyokulabirako wabula n’ayonoonebwa Pulezidenti Yoweri Museveni.

Bobi Wine obubaka buno yabuyisizza ku mutimbagano oluvannyuma lw’amawulire g’okufa kwa Gen. Lokech okusaanikira eggwanga nga kyategeerekese nti kwavudde ku kwetukuta kw’omusaayi ogwatambudde ne guzibikira amawuggwe.

“Gen. Lokech  abadde muvumu era omujaasi eyeegombesa. Bamwogeddeko bingi ng’omujaasi abadde omuvumu mu  ntalo ez’enjawulo. Banne bamwogeddeko ng’omuduumizi eyalumbanga wali wennyini emmundu we tokotera ekyateekanga obulamu bwe mu matigga. Ebyembi  Museveni tayonoonye ggwanga lyaffe lyokka naye n’abasajja abeerinnya era abamanyi nga Lokech.” Bw’atyo Kyagulanyi bw’agambye.

Kyagulanyi agamba nti kya nnaku okulaba ng’omusajja nga Lokech yakkiriza akozesebwe okulinnyirira eddembe ly’obuntu ng’agoberera ebiragiro bya Pulezidenti Museveni.

“Gen. Museveni,  yatya okumukuba akalulu, era ffenna tumanyi engeri gye yali ategese okubba akalulu. Yaleeta Gen. Lokech  okwang’anga munnayuganda yenna eyali yeetegese okuwakanya ebyava mu kalulu, ekintu ekyalinnyirira demokulaasiya.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.

Bobi Wine era asinzidde wano ne yeemulugunya ku ngeri abanene mu ggwanga gye bazze bafamu mu myaka egiyise nga n’abamu ku bo alipoota ezira ekituufu ekyabatta n’okutuusa kati tezifulumanga.

“N’okutuusa leero, bangi bafudde ne batulekera ebibuuzo era ono y’omu ku bo. Nina obubaka eri abapoliisi n’abajaasi abakyali abalamu. Mbasaba okuyigira ku kino ekyaguddewo. Olunaku lumu ffenna tugenda kufa era kye tujja okuleka emabega gy’emirimu gye twakola.” Kyagulanyi bw’alabudde.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist