Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kya Kabaka Foundation butegese empaka z’okugaba omusaayi okwetooloola amasaza gonna aga Buganda okulwanyisa ebbula ly’omusaayi eriri mu ggwanga.
Empaka zino zaatongozeddwa ku Lwokuna era zigenda kutandikira mu ssaza Buddu okuva nga 6 okutuusa nga 10 omwezi ogwa September.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala agamba nti emiwendo gy’abeetaaga omusaayi mu malwaliro giri waggulu kyokka nga tebalaba we guva.
“Blood Bank essaawa eno bw’otuukayo ng’oyagala musaayi, ekyamazima Katonda wa kutwalira kubanga tewali musaayi, tumaze ebbanga ng’abantu bali ku muggalo nga tewali agaba musaayi era kati embeera nzibu nnyo.” Omuk. Ndagala bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Omukungu Ndagala, bamaze dda okusomesa abaami b’amasaza nga bayambibwako ekitongole kya Red Cross ne Uganda Blood Transfussion Services ne babalaga obukulu bw’okugaba omusaayi era mu Buddu bajja kumalayo ennaku ttaano era n’ebifo awagabira omusaayi bijja kubeera bitaano.
Akwanaganya okugaba omusaayi mu kitongole kya Red Cross Namayanja Esther ategeezezza nga bwe basomeseza abaami bano ku bantu abakkirizibwa okugaba omusaayi era ne balagirwa okuddayo mu bitundu byabwe basomese abantu be batwala ku nsonga eno.
“Mu mulimu guno ogw’okukunga abantu ba Kabaka mu Buganda wonna, tulina bye tuteekwa okumanya n’okussaako essira, nti omuntu anaagaba omusaayi yafaanana atya.” Namayanja bw’agasseeko.
Omumyuka wa Ppookino asooka Nalubowa Rose agambye nti abantu bangi abeetaaga omusaayi era n’akunga bannabuddu okujjumbira empaka zino, basobole okuzetikka.