• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Eby’okulumba Gen Katumba:  7  bavunaaniddwa egy’obutemu n’obutujju

Gambuuze by Gambuuze
July 8, 2021
in Amawulire
0 0
0
Eby’okulumba Gen Katumba:  7  bavunaaniddwa egy’obutemu n’obutujju
0
SHARES
55
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Abantu 7 abaakwatibwa ku by’okulumba Gen. Katumba Wamala ne bakuba emmotoka ye amasasi agatta muwala we ne ddereeva we, basimbiddwa ku kkooti esookerwako e Nakawa ne bavunaanibwa emisango okuli; obutemu, okugezaako okutemula Gen. Katumba Wamala wamu n’obutujju.

Bano kuliko; Sserubula Hussein Ismael, Nyanzi Yusuuf Siraje, Muhammad Kagugube amanyiddwa nga Bafumoya, Kamada Walusimbi eyeeyita Mudinka, Sirimani Kisambira Ayub, Abdulaziz Ramathan Dungu ne Habid Ramathan Marjan.

Abasajja bano basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi  Dr. Douglas Singiza  era ne bavunaanibwa okutta Brendah Nantongo ne  Sgt Haruna Kayondo e Kisota Road mu  Kisaasi.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti nga June 1, 2021, bano wamu n’abalala abakyalira ku nsiko batemula abantu bano babiri ekikontana n’akawaayiro nnamba 188 ne 189 aka ‘Penal Code Act’.

Bano babalumirizza okugezaako okutta Gen. Katumba Wamala n’omukuumi we Sgt Khalid Koboyoit, ekintu nakyo ekimenya amateeka.

Era gavumenti ebataddeko emisango gy’obutujju bwe baakola wakati wa 2015 ne 2021 mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo era nga beenyigira mu kutiisatiisa awamu n’okutemula abantu okwali ne bannamagye.

Abasajja bano tebakkiriziddwa kubaako kye boogera kubanga emisango gye bazza gya Nnaggomola egiwulirwa kkooti enkulu.

Omulamuzi abasindise mu kkomera e Kitalya okutuusa nga August 3, 2021,  Oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti okutegeeza nti okunoonyereza mu musango guno kukyagenda mu maaso.

Bano mu kkooti bazze baliko ebisago ebyamaanyi bye bagamba nti byava ku kutulugunyizibwaa  era nga bayita mu munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima okuva mu  Wameli and Co Advocates, basabye kkooti bayimbulwe basobole okugenda okujjanjabibwa.

Mu kwanukula omulamuzi ategeezezza nga bw’atayina buyinza kubayimbula wabula n’alagira batwalibwe e Kitalya era beekebejjebwa abakulu mu kkomera eryo ku bigambibwa nti batulugunyizibwa era bakola alipoota gye bajja okuleeta mu kkooti nga babakomyawo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist