
Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Abakulembeze mu Munisipaali y’e Kira, batandise kaweefube w’okwongera okutangira ensaasaana y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona naddala ku mikolo egikung’aanya abantu abangi omuli okuziika.
Omu ku batuula ku kakiiko akalwanyisa Corona mu Kira, Lubega Hussein, ategeezezza nti ekiseera kituuse abantu bafunirwe ebyambalo ebikozesebwa okuziika abafudde Corona, kiyambe okutangira obulwadde buno era n’okukendeeza ku ssente obulindo ezisasulwa kkampuni eziziika ababeera bafudde Corona.
Okwogera bino Lubega asinzidde ku Kampala bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku kituufu ekirina okukolebwa okwewala ekirwadde kino.
“Tulina eggombolola 3 mu Kira era twagala buli ggombolola efune ebyambalo by’okuziika 10 bannannyini bafu batandike okweziikira abantu. Kino kijja kuluma aba kkampuni eziziika naye tewali kyakukola kubanga abantu baffe abasinga tebalina busobozi bwa ssente zisabibwa okuziika abaagalwa baabwe abafudde Corona olwo abaavu ne basalawo okubakweka ne babeezikira.” Lubega bw’agambye.
Lubega annyonnyola nti ebyambalo bino bisobola bulungi okwozebwa mu ddagala nga Jik buli lwe bimala okwozebwa era n’asaba ababaka ba Palamenti okwenyigira mu nteekateeka eno, bayambeko abatuuze baabwe.
Ono asabye bassentebe b’ebyalo bafeeyo mu kutumbula enteekateeka y’ebyambalo nga bazuula abafudde Corona ate ne bakakasa nti okuziika kugoberera emitendera emituufu.
Lubega agamba nti basazeewo okulwanyisa Corona nga basomesa abantu ku byalo ebyenjawulo ku ngeri gye bayinza okwetangira ekirwadde kino n’engeri gye basobola okulwanyisaamu obulwadde buno.









