• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kkooti Ensukkulumu eyimiriza ensala ya kkooti etaputa Ssemateeka mu musango gwa Kasango

Gambuuze by Gambuuze
March 31, 2021
in Amawulire
0 0
0
Kkooti Ensukkulumu eyimiriza ensala ya kkooti etaputa Ssemateeka mu musango gwa Kasango
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Kkooti Ensukkulumu eyisizza ekiragiro ekiyimiriza  okuteeka mu nkola ebiragiro bya kkooti etaputa Ssemateeka eyalagira abalamuzi bonna ababeera bafunye emirimu emirala mu bitongole bya gavumenti okusooka okulekulira.

Ensala eno yaddirira, munnamateeka kati omugenzi Robert Kasango okuddukira mu kkooti ng’awakanya eky’abalamuzi okulondebwa mu woofiisi endala yonna nga tebasoose kulekulira kuba kino kivvoola Ssemateeka gwe balina okukuuma.

Ekiragiro kino kyakosa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama, Ssaabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo n’akulira akakiiko k’ekitongole ekiramuzi, Benjamin Kabiito era bano kkooti yalaga nti woofiisi ze balimu bazirimu mu bukyamu.

Wabula kitegeerekese nti ku Lwokuna abalamuzi bataano aba kkooti Ensukkulumu nga bakuliddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, Stella Arach-Amoko, Rubby Aweri Opio, Paul Mugamba ne Ezekiel Muhanguzi,  batudde ne bayimiriza ekiragiro kya kkooti etaputa Ssemateeka olw’okujulira kwa Ssaabawolereza wa gavumenti.

“Olwokuba waliwo okujulira okwaleeteddwa mu kkooti, tuyisizza ekiragiro ekiyimiriza okuteeka mu nkola ebiragiro bya kkooti etaputa Ssemateeka. Bino bigenda kuyimirira okutuusa ng’omusango guno guwuliddwa.” Omulamuzi Mugamba eyasomye ekiragiro kino ku lwa banne bwe yagambye.

Kino kitegeeza nti wadde omulamuzi Byabakama, Ssaabawaabi Jane Frances Abodo n’akulira akakiiko k’ekitongole ekiramuzi, Benjamin Kabiito, baali balagiddwa okudda ebbali, kati baakudda mu woofiisi  okutuusa ng’okujulira kuno kuwuliddwa.

Pulezidenti Museveni akadde konna agenda kulayira

Ensala eno,  eraga nti Pulezidenti Museveni akkiriziddwa okugenda mu maaso n’okulayira mu May olw’ensonga nti akulira akakiiko k’ebyokulonda azzeeyo ku mirimu.

Mu mwaka gwa 2016, Kasango yatwala Ssaabawaabi wa gavumenti  ne Ssaabawolereza mu kkooti etaputa Ssemateeka ng’agamba nti kyali kimenya amateeka wamu n’okuyisa olugaayu mu kitongole ekiramuzi era nga kikontana n’ennono y’okwawula obuyinza mu masiga ag’enjawulo agakola gavumenti.

Ku ntandikwa y’omwaka guno, kkooti etaputa Ssemateeka yakakasizza nti kituufu kino kimenya amateeka era ng’abalamuzi okutwala ebifo ebirala nga tebasoose kulekulira gya bulamuzi, tekikkirizibwa.

“Nkyeraga nti abalamuzi bakyalondebwa mu bifo eby’enjawulo mu gavumenti n’ekitongole ekiramuzi. Ekitongole ebikwatibwako naddala akakiiko akagaba emirimu mu kitongole ekiramuzi balina okukakasa nti omulamuzi bw’aba tannaweebwa mulimu mulala asoose kulekulira.” Omulamuzi Kenneth Kakuru bwe yalamula ku lwa banne.

Ekirindiriddwa kwe kuwulira okujulira okwateereddwayo Ssaabawolereza wa gavumenti wamu n’okulinda ekinaavaayo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist