• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Museveni ayise Kadaga ne Oulanyah bateese ku kifo kya Sipiika

Gambuuze by Gambuuze
March 29, 2021
in Amawulire
0 0
0
Museveni ayise Kadaga ne Oulanyah bateese ku kifo kya Sipiika
0
SHARES
46
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRm) era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayise Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga n’Omumyuka we Jacob Oulanyah bateese ku kalumanywera ali ku kifo kya Sipiika anaakubiriza Palamenti y’e 11.

Pulezidenti Museveni nga asisinkanye Sipiika Kadaga n’Omumyuka we Jacob Oulanyah gyebuvuddeko

Embiranye eyamanyi eri wakati wa Sipiika aliko kati era amaze emyaka 10 nga ali mu kifo kino  Rebecca Kadaga n’omumyuka we Jacob Oulanyah.

Ensonda ezeesigika mu maka g’Obwapulezidenti zitegeezezza nga Pulezidenti Museveni bwagenda okusisinkana ababiri bano olwa leero, nga ekikulu ekigenda okwogerwako lwe lwokaano lwa Sipiika.

Waliwo amaloobozi agabadde gawulirwa nti akakiiko ka NRM ak’okuntikko akamanyiddwa nga CECE nti kawagira Jacob Oulanyah kuba bakkiriziganya kino kibeere ekisanja kya Kadaga ekisembayo wadde Kadaga agamba nti kino ssi kituufu abakulu bonna bawagira ye.

Wadde Kadaga yatongozza kakuyege w’okunoonya akalulu yeddize ekifo kino, Oulanyah ye tannavaamu kyamaanyi nga buli ensonga eno lwevaayo ajjuliza kimu nti abakulira ekibiina bajja kusalawo anavuganyiza ku kaadi y’ekibiina.

Obutakkaanya bwa bano bweyongedde nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo okumansa ebigambo ku lunnaalwo ekyawaliriza Ssaabawandiisi w’ekibiina,  Justine Kasule Lumumba  okusaba enjuyi zombi okwekomako.

Wabula olwa leero kisuubirwa nti  akulira ekibiina kya NRM agenda kwogerako nabo basobole okutta ku bigere n’okweyogerera amafukuule kuba kittatana ekibiina.

Yo NRM ng’ ekibiina egenda kubeera n’olusirika lw’ababaka abalonde e Kyankwanzi okusalawo ani anaakwatira ekibiina bbendera ku kifo kino.

Ssentebe wa NRM era asuubirwa okwogera n’abavuganya ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika abali mu kibiina kya NRM.

Abavuganya ku kifo kino kuliko omubaka omukyala owa Bukedea Annet Anita Among, Minisita David Bahati ne Robinah Rwakoojo.

Wadde obukakafu bwebyo ebigenda okuteesebwako tebimanyiddwa, ensonda mu maka g’Obwapulezidenti zikakasa nti Dr. Ruhakana Rugunda yagenda okukubiriza ensisinkano zino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist