• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Buganda esse omukago n’aba Healthy Hearts okulwanyisa ekirwadde ky’omutima

Gambuuze by Gambuuze
March 17, 2021
in Agafa e Mengo, Eby'Obulamu
0 0
0
Buganda esse omukago n’aba Healthy Hearts okulwanyisa ekirwadde ky’omutima
0
SHARES
60
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Bulange -Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kyabwe ekikwanaganya bannamikago ekya Buganda Investments and Cultural Undertakings, busse omukago n’ekitongole kya Healthy Hearts Foundation n’ekigendererwa eky’okulwanyisa obulwadde bw’omutima.

Minisita Nankindu nga atongozza omukago guno

Bw’abadde atongoza omukago guno ku mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange, Mmengo, Katikkiro  Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okusoosowaza eby’obulamu kibasobozese okutuukiriza ebigendererwa byabwe. Abasabye okukuuma obulamu nga bulamu bakiteeke ku lukalala lw’ebigendererwa byabwe.

 Mukuumaddamula ategeezezza nti abantu basaanidde okukola ebyo ebisobozesa emitima gyabwe okusigala nga miramu ng’okwewala okulya ebisiike mu bungi n’ennyama ensava, okunywa  omwenge oguyitiridde ne ssigala ate bakole dduyiro kubanga omutima gwamugaso nnyo eri obulamu.

“Omutima si ky’ekintu kyokka ekyomugaso mu mubiri naye ate bwegutaba mulamu ebitundu by’omubiri ebirala bifeeba.” Katikkiro bwe yategeezezza.

Owoomumbuga yeebazizza ekitongole kya Healthy Hearts Foundation olw’okulafuubana okulaba ng’abantu bawangaala n’emitima emiramu ate ne kiwa n’abantu amagezi agakisobozesa okutuukirira era n’asaba abantu bagagoberere. Katikkiro akikkaatirizza nti singa abantu babeera balamu bajja kusobola okuzza Buganda ku ntikko kubanga ensonga Ssemasonga ey’okukola obutaweera bajja kuba basobola okugikwata kannabwala.

Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma,  y’ataddeko omukono ku ndagaano eno ku lw’Obwakabaka, ate Owek. Ritah Namyalo era nga ye Ssenkulu wa Healthy Hearts Foundation n’assaako ku lw’ekitongole ekyo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist