Bya Jesse Lwanga
Mukono
Obwakabaka bwa Buganda bugabidde abayizi ab’enjawulo bbasale mu Mukono ne Buikwe okuyambako abazadde okuzza abaana baabwe ku masomero oluvannyuma lw’ebyenfuna okutagulwa ennyo ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Bano Omwami atwala essaza lya Ssaabasajja ery’e Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya, akubirizza abazadde okulaba ng’abaana abaweereddwa bbasale badda mu bitundu gye bava, kiyambe okuzza Buganda n’e Kyaggwe ku ntikko.
Bino Ssekiboobo yabyogeredde ku kitebe ky’essaza bwe yabadde akwasa abayizi bbasale wakati ng’abayizi bateekateeka okudda ku ssomero oluvannyuma lw’okusindikibwa okudda eka olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Ssekiboobo Bogere ategeezezza nti ku mulundi guno bafunye bbasale eziwerera ddala n’asaba abazadde bonna abazitoowereddwa okuggya bafune bbasale zino okuli eva Muteesa I Royal University kuba omukisa gugenda kusooka kuweebwa abo abeetaavu.
Ye atwala ebyenjigiriza mu ssaza lino, Steven Katabalwa, agamba beetegefu okufunira abazadde bbasale eziwerera ddala emitwalo 3 nga mu zino mulimu n’ezo eziteetaagisa bayizi kusasula kintu kyonna eri abayizi abateesobolerako ddala. Bo abazadde be twogeddeko nabo basiimye Ssaabasajja Kabaka olw’okuwa abaana ba Buganda omukisa naddala okusomesa abaana baabwe mu kiseera kino nga Ssennyiga Corona akyatawaanya eggwanga nga bangi essuubi ly’okuzza abaana ku masomero libadde likeeye.