Bya Ssemakula John
Kampala
Abakulembeze b’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), bawandiikidde abakulembeze b’omukago ogutaba ebibiina by’obufuzi ebiri mu Palamenti ogwa Inter party Organisation for Dialogue (IPOD) ne kiwa ensonga lwaki tekigenda kwetaba mu lukung’aana lw’omukago guno ogubindabinda.

Ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti eno, Pulezidenti Yoweri Museveni era akulira ekibiina kya NRM asuubirwa okukubiriza olutuula lwa IPOD mu kiti kye ekya ssentebe wa NRM. Endagaano eyakolebwa mu mukago guno n’eteekebwako omukono ebibiina okuli; DP, FDC, JEEMA, NRM ne UPC, eragira omukago guno okutuula buli luvannyuma lwa myezi mukaaga.
Ensisinkano y’omulundi guno yaakubeera ku kisaawe e Kololo wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Okutabaganya eggwanga.”
Mu bbaluwa aba FDC gye bawandiise ng’eriko omukono gwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Nathan Nandala Mafabi, yagambye nti bakyekenneenya ebyava mu kulonda kuba byalimu ebirumira.
“Nga bwe mumanyi twakava mu kalulu akaavulugibwa akakiiko k’ebyokulonda nga bayambibwako ebitongole by’okwerinda okuli amagye ne poliisi.” Nandala bwe yategeezezza.
“Tutegeezeddwa nti mwagala kutegeka lukung’aana awatali kukkiriza bibiina kutuula munda mu byo kukkaanya ku ebyo ebirina okuteesebwako nga bwe kirina okubeera. Ffe tulowooza nti IPOD yandisoose kukuba ttooci mu byava mu kalulu ka 2021 kuba kaalimu vvulugu mungi.” Nandala bwe yagasseeko.
Mafabi yannyonnyodde nti okusinziira ku kyamanyi, omukago gwa IPOD gutuula nga kkanso yaayo erina omukiise okuva mu buli kibiina, bamaze okukkaanya ku ebyo ebigenda okuteesebwako.
“Ffe nga FDC tulina okusooka okwebuuza ku bakulu mu kibiina. Ekibiina ekyaffe si kya muntu omu, tulina okusooka okukkaanya ku nsonga. Tetujja kwetaba mu lukung’aana luno olutegekeddwa mu bwangu nga n’ebyo ebigenda okuteesebwako tetusoose bikkaanyako.” Mafabi bwe yalambuludde.








