Bya Betty Namawanda
Masaka
Abasuubuzi mu Kibuga kya Ssaabasajja Kabaka Masaka mu Buddu bakunyizza Ttawuni Kkiraaka w’ekibuga kino, John Behangane, nga bamulanga okukolagana n’abagagga abamu n’alemererwa okuteeka amateeka g’ekibuga mu nkola.
Abasuubuzi n’abakulembeze okwogera bino basinzidde mu kibuga Masaka mu balaza etegekebwa okusala entotto ku ngeri ekibuga gye kiyinza okuteekerwatekerwa.
Abasuubuzi bano bannyonnyodde nti abasuubuzi abafuna ekitono banyigirizibwa nnyo amateeka n’engeri gye gateekebwa mu nkola ate nga bo abagagga abatwala ekibuga babasuusuuta. Bano balumiriza Ttawuni Kkiraaka John Behangane okulemererwa okuteekawo kaabuyonjo ez’olukale ng’abantu w’ebasanga we beeyambira, ekiviirako ekibuga okuwunya ekivundu n’okusaasaanya endwadde.
Ku musolo ogugerekebwa, abasuubuzi bagamba nti mungi naye ate tebalaba kye gukola kuba ekibuga kya Ssaabasajja embeera mwekiri eyungula ezziga ng’abasinga baggalawo amaduuka gaabwe ng’obudde bukyali kuba n’amataala g’ekibuga ge baafuna gonna tegaaka.
Wabula abasuubuuzi basabye Ttawuni Kkiraaka okusala amagezi ku ngeri gye bayinza okuweerezaamu bannamasaka awatali kusosola, okusobola okukulaakulanya ekibuga kino.
Ye Ttawuni Kkiraka w’eKibuga Masaka, John Behangane, alaze obutali bumativu ku ngeri abasuubuzi bano gye b’onoona ekibuga nga buli w’oyita, eby’amaguzi babiteeka mu makubo abantu mwe bayita, ekintu ekigootaanya obuyonjo.
Ono era akirambise nti bagenda kutandika kukwasisa amateeka n’amaanyi okusobola okulaba nga bamalawo emputtu mu basuubuzi, ekibaviirako okwonoona ekibuga kya Kabaka mu bugenderevu. Asinzidde wano n’asaba abasuubuzi bamuyambe batereeza ekibuga kino.