• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyobusubuuzi

Abasuubuzi e Masaka batabukidde Ttawuni Kkiraaka lw’amateeka

Gambuuze by Gambuuze
February 25, 2021
in Ebyobusubuuzi
0 0
0
Abasuubuzi e Masaka batabukidde Ttawuni Kkiraaka lw’amateeka
0
SHARES
112
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Betty Namawanda

Masaka

Abasuubuzi mu Kibuga kya Ssaabasajja Kabaka  Masaka mu Buddu  bakunyizza Ttawuni Kkiraaka w’ekibuga kino,  John Behangane, nga bamulanga okukolagana  n’abagagga  abamu  n’alemererwa okuteeka  amateeka g’ekibuga mu nkola.

Ttawuni Kkiraka w’eKibuga Masaka, John Behangane

Abasuubuzi n’abakulembeze  okwogera bino basinzidde  mu kibuga Masaka mu balaza etegekebwa  okusala entotto ku ngeri ekibuga gye kiyinza okuteekerwatekerwa.

Abasuubuzi bano bannyonnyodde nti abasuubuzi abafuna ekitono banyigirizibwa nnyo amateeka n’engeri gye gateekebwa mu nkola ate nga bo abagagga abatwala ekibuga babasuusuuta. Bano balumiriza Ttawuni Kkiraaka John Behangane okulemererwa okuteekawo kaabuyonjo ez’olukale  ng’abantu w’ebasanga  we beeyambira, ekiviirako  ekibuga okuwunya  ekivundu n’okusaasaanya endwadde.

Ku musolo ogugerekebwa, abasuubuzi bagamba nti  mungi naye ate tebalaba kye gukola kuba ekibuga kya Ssaabasajja embeera mwekiri eyungula ezziga ng’abasinga baggalawo amaduuka gaabwe ng’obudde bukyali kuba n’amataala g’ekibuga ge baafuna gonna tegaaka.

Wabula abasuubuuzi basabye Ttawuni Kkiraaka  okusala amagezi ku ngeri  gye bayinza okuweerezaamu bannamasaka awatali kusosola, okusobola okukulaakulanya ekibuga  kino.

Ye Ttawuni Kkiraka w’eKibuga Masaka, John Behangane, alaze obutali bumativu  ku ngeri abasuubuzi bano gye b’onoona  ekibuga  nga  buli w’oyita, eby’amaguzi babiteeka mu makubo abantu mwe bayita, ekintu ekigootaanya obuyonjo.

 Ono era akirambise nti  bagenda kutandika kukwasisa amateeka n’amaanyi okusobola  okulaba nga bamalawo emputtu mu basuubuzi,  ekibaviirako  okwonoona ekibuga kya Kabaka mu bugenderevu. Asinzidde  wano n’asaba abasuubuzi bamuyambe batereeza ekibuga kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist