Bya Ssemakula John
Mawokota
Katikkiro wa Buganda eyawummula, Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, asabye abantu ba Ssaabasajja okwettanira ennyo enteekateeka ez’okukulaakulanya ebika byabwe kubanga ebika y’emu ku mpagi Obwakabaka kwe buyimiridde.

Okwogera bino, Owek. Mulwannyammuli abadde ayanjula enteekateeka z’okuzimba embuga ku butaka bw’ekika ky’Olugave e Katende mu Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi.
“Nneebaza Abagave na bonna abatali bagave abeetaba mu ttabamiruka, ekivvulu ekyali ku Labonita wamu ne ku Papaz, tubeebaza olw’okusonda ssente era mpozzi n’okubajjukiza okwongera okusonda ssente kuba wakyaliwo ebyetaagisa.” Owek. Mulwannyammuli bw’agambye.
Owek. Mulwanyammuli annyonnyodde nti baliko ebintu bye bakoze ng’okugula ettaka, okukuba pulaani wamu n’okulondoola ettaka ly’ekika erikyasigaddewo. “Ffe twagala tutandike n’ekyo kyonna kye tutandisa kubanga bw’ototandika era totandika, ffe tugenda kutandika n’ekyo ekitono kye tulina ne bannaffe abaasuubiza basobole okuleeta bye beeyama, ate n’abalala abatali ba Lugave basobole otukwatirako.” Owek. Mulwannyammuli bw’agasseeko.
Owek. Mulwanyammuli ategeezezza nti baakukola buli kimu okulaba nti buli nnusu ekozesebwa bulungi era basale amagezi okulaba nti buli muzzukulu avaayo okuyambako. Ekizimbe ekisuubirwa okuzimbibwa kyakubeerako woofiisi y’Omutaka Ndugwa, woofiisi z’abakulu b’Obusolya n’Abaamasiga, ekifo awaterekebwa ebikadde oba Museum, n’ekifo awanaatulwanga enkiiko ez’enjawulo.
Ono aggumizza Abagave nga bwe batandise okulondoola ettaka ly’ekika eryali lyatundibwa mu bukyamu era n’asuubiza okubawa amawulire ku kinaaba kituukiddwako, kuba omusango ab’Olugave baali baagusinga.
Ssentebe w’olukiiko olutwala ekika ky’Olugave, Fred Katende Kyekango, ategeezezza nga bwe basobodde okukunga abazukulu ne bagula ettaka kwe bagenda okuzimba embuga y’ekika era balina essuubi nti mu bbanga eritali ggere, omulimu gw’okuzimba gwakutandika mu butongole.








