• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omubaka Nambooze asimattuse amasasi, aba NUP babiri bataawa

Gambuuze by Gambuuze
January 30, 2021
in Amawulire
0 0
0
Omubaka Nambooze asimattuse amasasi, aba NUP babiri bataawa
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Jesse Lwanga

Mukono

Omubaka w’ekibuga kya Mukono mu Palamenti, Betty Bakireke Nambooze, yasimattuse okukubwa amasasi akawungeezi k’eggulo ku Lwokutaano e Namayiba, bwe yabadde anoonyeza munnakibiina kye ekya NUP akalulu.

Omusawo ng’akola kw’omu ku bakubiddwa amasasi e Nakisunga.

Nambooze yabadde akuyegera munnakibiina kye, Susani Bogere Nsensebuse, eyeesimbyewo ku bwassentebe bw’eggombolola y’e Nakisunga era ng’eno abapoliisi gye baakubidde emmotoka ye ey’ekika kya Landcruiser UAW 903Y amasasi.

Abaabaddewo balumiriza akulira poliisi ye Nakisunga, Asp Asio Margret ne basajja be, okuwandagaza amasasi mu bawagizi abaabadde ku kkampeyini ya Nsesebuse olwa kafyu, okukkakkana nga babiri bamenyese amagulu.

Ssemuyingo Noah ne Samwiri Muwonge be baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.

Era waliwo n’omwana ow’emyezi ebiri eyalinnyiddwa abantu mu kavuvung’ano oluvannyuma lw’okuva mu mikono gya maama we era ono naye atwaliddwa mu ddwaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Ab’enganda z’abaakubiddwa amasasi okuli Nagawa Esther bavumiridde ekikolwa kino nga bagamba nti abantu baabwe tebaabadde mu lukung’aana luno ng’amasasi gaabalumbye bbali.

Ate ssentebe w’eggombolola y’e Nakisunga, Ssekikubo Mubaraka, omusango agutadde ku Mubaka Nambooze olw’okukuba olukung’aana olumenya amateeka, abatuuze be ne balumizibwa.

Wabula ye gwavuganya naye Bogere Nsensebuse alumiriza Ssekikubo okuvaako obuzibu kubanga ye yayise poliisi era poliisi olwatuuse n’etandika okukuba amasasi era agamu negakwata emmotoka ya Nambooze.

Ye omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano,Patrick Onyango, akakasizza okukubwa kw’abantu amasasi era nga ategeezezza nti poliisi yabadde ekwasisa mateeka.

Onyango agambye nti abapoliisi baabadde balawuna naye olwatuuse mu katawuni k’e Namayiba ne basanga nga Nambooze ne Rev. Bakaluba Mukasa  bakubyewo olukung’aana kyokka bwe baagenze okwogera nabo, abawagizi ne batandika okubakuba amayinja ne poliisi kwe kwerwanako.

Ono agasseeko nti waliwo amasasi agaawabye ne gakwata abantu ababiri mu magulu n’ebisambi, kyokka ng’okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist