• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omuwagizi wa NUP attiddwa mu bukambwe

Gambuuze by Gambuuze
January 21, 2021
in Amawulire
0 0
0
Omuwagizi wa NUP attiddwa mu bukambwe
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Jesse Lwanga

Mukono

Ebitalo bigudde mu bawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform mu Mukono North, omu ku bannabwe eyali yabula okumala akaseera bwasangiddwa nga yafa omulambo gwe negusuulibwa mukibira kya gavumenti ekisangibwa e Kifu mu Kyampisi.

Abapoliisi nga batwala omulambo gwa Ssemakula

Omugenzi ye Rogers Ssemakula ow’emyaka 36 nga mutuuze we Kiyunga nga kigambibwa nti yabadde akulira abavubuka ba Ghetto mukitundu kino. Kigambibwa nti Ssemakula yafa mukiro ekyakeesa olunaku lw’okulonda Pulezidenti n’ababaka bapalamenti.

Omulambo gwa Ssemakula gwazuuliddwa omulaalo abadde alunda ente era nga gubadde gutandise okuunda.

Abatuuze  balumirizza nti ono y’omu ku bantu abazze bawambibwa abantu abatambulira mu mmotoka y’ekika kya ‘Drone’ etaliiko nnamba era nga babadde bamunoonya okumala ennaku eziwerako.

Isma Byekwaso nga abadde awangaala n’omugenzi agamba nti, Rogers abadde omuntu atalina buzibu bwonna nga abadde akola mirimu gwa kukuba matoffaali ssako okutunda enku nga n’ebyobufuzi abadde tabiriimu nnyo okuggyako okuwagira Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Namwandu w’omugenzi, Nampijja Zalfa kyokka nga babadde tebabeera wamu ategeezezza  nti yasembayo okubeera ne bba nga 13 namuwa nakakonge ke ng’amukuutira okugenda okulonda kyokka byamusobera bwatamulabako mu kulonda era nga okuva olwo babadde bamunoonya.

Ono amulekedde abaana babiri abalenzi ku myaka musanvu n’etaano.

Omubaka w’ekitundu kino omulonde, Abudallah Kiwanuka ategeezezza nti bamaze batutte omusango ku poliisi era nga basuubira kkooti okutandika okuwulira omusango gwabwe ku lunaku lw’enkya.

Ono agamba Ssemakula y’omu ku bantu abasoba mu 10 abaze bawambibwa mu ssaza lino  nga agamba nti ekizibu kyava ku byabufuzi wakati we ne Minisita w’amazzi  Ronald Kibuule.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist