• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Ekitiibwa kya Buganda kirabikira mu bantu ba bulijjo si baami – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
December 8, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Ekitiibwa kya Buganda kirabikira mu bantu ba bulijjo si baami – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Mawokota

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti ekitiibwa kya Buganda tekirina kulabikira mu baami ba Ssaabasajja Kabaka bokka naye ne wansi mu bantu ng’eno y’ensonga lwaki Obwakabaka bulijjo bwagala okutumbula embeera z’abantu baabwo.

Katikkiro Mayiga nga azimba ku musingi ogwatemeddwa okuzibirako Nakiganda ennyumba

Bino Kamalabyonna abyogeredde mu Mawokota ng’aggalawo omwaka gwe Emmwanyi Terimba 2020 wamu n’okutema evvuunike ery’okuzimbira Mukyala Margaret Nakiganda ennyumba mu nteekateeka y’Obwakabaka ne Habitant for Humanity ey’okuzimbira abeetaavu, ennyumba ku kyalo Kiryambidde e Butoolo.

“Tuyimbye ekitiibwa kya Buganda wano ne tugamba nti kyava dda naye ekitiibwa kino tekirina kulabikira mu ffe abaami. Ekitiibwa kirina kulabikira mu bantu ba Kabaka kubanga Buganda bantu.” Mayiga bw’agambye.

Mayiga agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bugagga nnyo kasita abantu b’Omutanda basalawo okukolera awamu ku nteekateeka ez’enjawulo.

Katikkiro Mayiga agambye nti  singa ekitiibwa kiyimbibwa mu bantu abeetaavu awatali nteekateeka yonna yakubajuna kuba ng’okwekiina  era n’asaba abantu mu Buganda bulijjo okuyamba abali mu bwetaavu.

Ono agambye nti enteekateeka zonna Buganda z’ekola omuli eya Emmwanyi Terimba n’okujuna abeetaaga okubeera, zonna zisoosowaza bantu basobole okutumbula embeera zaabwe.

Asiimye bannamikago abatambula ne Buganda, okutumbula embeera z’abantu olw’okuwaayo n’okweyama okukyusa obulamu bw’abantu b’Omutanda basobole okufuna ekitiibwa kyabwe nga babazimbira ennyumba.

Mukuumaddamula era asinzidde Kiryambidde mu Mawokota n’atongoza akakiiko k’abantu 16 ak’abagenda okulondoola omukago gwa Habitant for Humanity n’Obwakabaka.

Akakiiko kano kakulirwa; Owek. Waggwa Nsibirwa, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, Owek. Joseph Kawuki, Omukugu Robert Otim, Roland Ssebuufu n’omuk. Peter Zaake awamu n’abalala.

Omwami w’essaza Mawokota, Gabriel Kabonge  ategeezezza Kamalabyonna nti, asiimye Omutanda olw’okulumirwa abantu be ng’abazimbira ennyumba basobole okukyusa obulamu.

Omukolo guno gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, baminisita n’abakungu ba Ssaabasajja Kabaka abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist