• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omuloodi Lukwago akomyewo n’asaba gavumenti eyongere ssente mu by’obulamu

Gambuuze by Gambuuze
December 7, 2020
in Amawulire
0 0
0
Omuloodi Lukwago akomyewo n’asaba gavumenti eyongere ssente mu by’obulamu
0
SHARES
28
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago, akomyewo mu ggwanga okuva mu ddwaliro lya Aga Khan mu kibuga Nairobi gya yali yagenda okujjanjabibwa.

Omuloodi Lukwago nga ayanirizibwa

Lukwago yatwalibwa e Nairobi omwezi oguwedde oluvannyuma lw’okujjanjabibwa ekirwadde kya Alaje omukambwe. Ono yatuuse mu maka ge e Wakaliga mu ttuntu lya leero era ne balomba edduwa  olw’obulamu bwe.

“Mpulira essanyu ninga azuukidde, kino kyongera kuva ku ntobo y’omutima gwange.” Lukwago alabise nga munafu bw’agambye.

Lukwago annyonnyodde ebyo byayiseemu oluvannyuma lw’okukeberwa mu ddwaliro e Lubaga era ng’abadde awulira obuzibu mu kussa.

Ono yakyalira abakugu mu by’okussa aba  Ear Nose and Throat (ENT) era nga bano baamutegeeza nti ekizibu kya Aleja kino kiva ku kalifuuwa n’eddagala erinaabibwa mu ngalo okutta akawuka ka Ssennyiga Corona.

Omuloodi Lukwago agamba nti oluvannyuma yatuukirira Dr. Kizza Besigye eyakolaganira awamu ne badokita abalala abaamulagirira omukugu w’amawuggwe gwe yalina okulaba.

 Embeera ya Lukwago yeeyongera okubeera obubi era n’atwalibwa mu ddwaliro lya Aga Khan era n’ateekebwa ku byuma okusobola okujjanjabwa era nga mu kiseera kino yali awulira bubi era ng’atya nti ayinza okufiirwa obulamu.

 Bwe yabadde e Aga Khan, Lukwago yajjanjabiddwa abakugu abakuliddwamu munnayuganda Prof. Godfrey Lule, ono ne banne baazudde nti emisuwa gya Lukwago gyabadde ginafuye era nga yabuzeeko katono omusaayi gwe okwetukuta.

Lukwago yasinzidde ku bye yayiseemu n’asaba gavumenti eyongere okuteeka ssente mu by’obulamu kubanga ensonga lwaki abakugu tebaamulagirira kujjanjabwa wano lwa nsonga nti ebikozesebwa tebiriiwo.

ono Kati ayagala gavumenti esse ekitiibwa mu ndagaano ya Abuja Declaration eragira ensi ez’enjawulo okuteeka waakiri ebitundu 15 ku buli 100 eby’embalirira mu by’obulamu.

Ku butaka Lukwago ayaniriziddwa mmeeya wa Rubaga, Owek. Nabbosa Ssebuggwawo, omubaka Allan Ssewanyana, Omubaka Moses Kasibante, Omubaka Kato Lubwama n’abalala.

Lukwago we yalwalira yali yaakamala okuyimiriza okunoonya akalulu k’Obwaloodimmeeya oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa munnakibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi era ng’ono yadde akomyewo nga tannaba kulangirira kuddamu kunoonya kalulu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist