• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga akungubagidde Rosalina Kyewalabye

Gambuuze by Gambuuze
November 9, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga akungubagidde Rosalina Kyewalabye
0
SHARES
12
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, akungubagidde mukyala wa Minisita w’Obuwangwa n’ennono, Kyewalabye Male, Rosalinda Kyewalabye eyafudde ku lunaku lwa Mmande nga bukya, oluvannyuma lw’okulongoosebwa ebizimba mu lubuto (Fibroids).

Omugenzi Rosalina Kyewalabye

Owek. Katikkiro ategeezezza abakungubazi abakung’aanidde mu maka ga Owek. Kyewalabye e Kikajjo ku lw’e Nakawuka, ng’omugenzi bw’abadde omuntu atya ennyo Katonda naye ne yeebaza olw’okuba nti abalekedde ekirabo ky’abaana ekisinga byonna.

Kamalabyonna Mayiga, asabye Owek. Kyewalabye okunywera era agume n’abaana basobole okumugumirako era akakasa nti singa anaaguma, Katonda ajja kumusiba ekimyu asobole okuyita mu kaseera kano akazibu.

Katikkiro Mayiga ategeezezza Minisita Kyewalabye nti, “Olinga ali wakati mu lutabaalo ng’akukwatira engabo ate ye agenze, awo oba olina okugyekwatira, kye kiseera ky’olimu. Naye tuli naawe era okutya n’ennaku kya buntu naye guma ow’oluganda.”

Katikkiro Mayiga ne Minisita Kyewalabye

Ono annyonnyodde nga Owek.  Kyewalabye aludde nnyo mu buweereza eri Nnamulondo era nga n’embaga yaabwe yagiriko era n’atendereza omugenzi Rosalinda olw’okubeera empagi ennene mu bulamu bwa Minisita Kyewalabye.

Katikkiro Mayiga asiimye ab’ekkanisa y’ekitundu era n’abasaba okumubeererawo mu kiseera kino ekijjudde okusoomooza.

Okusinziira ku Minisita w’amawulire mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek, Noah Kiyimba, omugenzi yalongooseddwa ebizimba era n’adda bulungi engulu naye obudde nga bukya embeera yatabuse era n’ava mu bulamu bw’ensi.

Minisita Kiyimba ategeezezza nti Katikkiro Mayiga ataddewo akakiiko okukwatagana n’abenju okukola ku nteekateeka z’okuziika era nga kano kaliko; Minisita Henry Ssekabembe Kiberu, Minisita Noah Kiyimba n’omukungu David Ntege, okukola ku nteekateeka z’okuziika.

Omukolo gw’okukungubaga guno gwetabiddwako; Omumyuka asooka owa Katikkiro Twaha Kaawaase, Baminisita okuva mu Bwakabaka, bannaddiini n’abakungu okuva mu gavumenti eyawakati.

Omubiri gw’omugenzi nga gutuusibwa mu makaage mu Kikajjo

Omugenzi waakuziikibwa e Kiweebya Mityana mu ssaza ly’e Ssingo ku lunaku Olwokusatu lwa wiiki eno.

Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist