Bya Ssemakula John
Kibuli
Obwakabaka bwa Buganda bwakusomesa abasajja mu bitundu eby’enjawulo ku ngeri gye basobola okwewala okutyoboola eddembe ly’abakyala.
Kino kibikkuddwa Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu mu Gavumenti ye Beene, Oweekitibwa Prosperous Nankindu Kavuma, leero bw’asisinkanye ebibiina by’obwannakyewa ne bannabyabufuzi abalwanirira eddembe ly’abakyala ku Mestil Hotel e Nsambya mu Kampala.
“Tulina okukkiriziganya nti ekyo kimala, tukyuse endowooza zaffe, tukyuse enkola yaffe era ffe mu Bwakabaka tugenda kuddayo era tuli bamalirivu okusomesa abakulembeze, okusomesa abaami, okusomesa abakyala ate n’okusomesa abavubuka mu ngeri ey’enjawulo,” Owek. Nankindu bw’agambye.
Minisita Nankindu agambye nti bali ekkatala okulaba ng’ebikolwa by’okutulugunya abakyala n’abaana b’obuwala bikoma ku mulembe guno.
Owek. Nankindu annyonnyodde nti bagenda kuyita mu buwangwa okusobola okunyweza eddembe ly’abakyala era n’asaba abaami okumanya nti tewali kalungi kava mu kukuba bakyala.
Ebibiina bino eby’obwannakyewa bikwataganye ne bannaddiini okulaba engeri gye banaatambuzaamu enjiri y’okukuuma eddembe ly’abakyala okutuuka wansi mu bantu.
Bano bakkiriza nti kino kijja kuyamba okukomya ebikolwa okuli; okubakuba emiggo ng’ente, okugobwa mu maka, okubasuulira abaana wamu n’ebikolwa ebirala bingi.
Ku nsonga eno, Omukungu wa Oxfam, Harriet Mbabazi ategeezezza nti ebitundu 25 ku buli 100 ebya bakyala wakati w’emyaka 15 – 45, bawangaalira mu bulamu bwakutulugunyizibwa nga walina okubaawo ekikolebwa mu bwangu.
Omubaka omukyala ow’e Kasese, Winnie Kiiza agambye nti ky’ekiseera abazadde bawe ku baana abawala ekitiibwa era baweebwe n’omukisa okubasikira singa baba bavudde mu bulamu bw’ensi.