Bya Gerald Mulindwa
Bugerere
MINISITA w’obuwangwa ennono olulimi n’ebifo eby’enkizo mu Bwakabaka bwa Buganda, David Kyewalabye Male, aweze obutakoowa kubanja bifo bya Buganda eby’enkizo ebizze bitwalibwa abantu ssekinnoomu era n’alabula nti bino baakubinunula.
Bino Owek. Kyewalabye abyogeredde ku biyiriro by’e Kalagala mu Kayunga mu ssaza ly’e Bugerere leero ku Lwokubiri, bw’abadde mu kaweefube w’okulambula, okukuuma wamu n’okutumbula ebifo by’obuwangwa n’ennono mu Buganda.
Kyewalabye agambye nti emirimu gy’okukulaakulanya ebiyiriro bino baakugitandikira ku kitundu ekisigaddewo olwo balyoke babanje ebitundu ebyabawambibwako
“Waliwo amaloboozi agalaga nti ekifo kino kyali kinene era nekituwambibwako. Mu nkola ey’Obwakabaka, tutandika ne kye tulinawo naye tekitugaana, Kabaka yatugamba tetukoowa kubanja bintu byaffe,” Minisita Kyewalabye bw’agambye.
Owek. Male yeebazizza abataka b’oku kitundu era n’ajjukiza abatwala erimu ku ttaka lino nti nalyo lya Buganda era balina okukimanya nti nebwebuliba ddi ettaka lino bajja kulinunula.
Minisita Kyewalabye ategeezezza nti ekifo kino kiriko ensonga z’ebyobuwangwa n’ennono era nga kyankizo nnyo eri abantu ba Buganda ng’abamu bawanuuza okuba nga birimu amaanyi agabayamba mu bulamu bwabwe.
Annyonnyodde nti bagenda kutuula n’abatuuze abali mu kitundu kino bateese ku kye balina okukolera mu kifo kino, buli ludda lusobole okuganyulwamu.
Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board, Nnaalinnya Carol, asiimye abatuuze olw’okufuba okukuuma ekifo kino era n’alaga ng’Obwakabaka bwe bugenda okusitukiramu okutumbula ekifo kino kisobole okuyingiza ssente mu ggwanika wamu n’okufunira abatuuze emirimu.
Owessaza ly’e Bugerere, Mugerere James Ssempigga, agambye nti, ekifo kino kibadde kimanyiddwa okuva ku mirembe Emicwa era ng’alina essuubi nti kigenda kuyamba abantu b’essaza lino.