• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’e Kikooza beekalakaasizza lwa masannyalaze

Gambuuze by Gambuuze
October 27, 2020
in Amawulire
0 0
0
Ab’e Kikooza beekalakaasizza lwa masannyalaze
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Jesse Lwanga

Mukono

Abatuuze wamu n’abasuubuzi b’e Kikooza mu kibuga Mukono, baggadde oluguudo oluva ku katale ka Kame Valley akamanyiddwa nga Kikko okudda e Wantoni, ng’entabwe evudde ku kumala Ssabbiiti nnamba nga tebalina masannyalaze.

Abatuuze nga bakumye omuliro mu kkubo

Bano okuli; abookya ebyuma, abatunda amata, ab’ebyokunywa, aba Saluuni n’abakola Ice, bategeezezza nti bafiiriddwa obukadde n’obukadde bwa ssente ate nga nazo si zaabwe kubanga baali baazeewola mu bibiina era nga kati tebamanyi kyakukola.

Abatuuze bano bawadde ekitongole kya UMEME nsalessale ya lunaku lumu era nga lwe lwaleero okuzzaako a masannyalaze gaabwe oba si ekyo baakukolawo ekisinga ku kino.

Balumirizza nti ng’oggyeeko eky’ebintu bye bakozesa okwonooneka, naye n’ebintu ebikozesa amasannyalaze omuli Fridge, Radio, ne TV kubanga buli lwe gabaddenga agaagala okudda nga gamyansa negookya ebintu byabwe.

Embeera yeeyongedde okubeera ey’obunkenke okutuusa aduumira ebikwekweto ku poliisi y’e Mukono, ASP Michael Wadulu, bw’atuuse okukkakkanya abatuuze era n’azikiza omuliro ogubadde gukumiddwa. Abasabye okukomya okukuma omuliro mu nguudo kuba kyonoona kkolaasi.

Wadulu abasuubizza okukwatagana n’aba UMEME okulaba ng’ekizibu kino kikolebwako mu bwangu. We tukoledde eggulire lino nga poliisi ekyagumbye mu kifo kino okutangira abasuubuzi okuddamu okuziba ekkubo lino.

Kaweefube waffe okwogerako n’omwogezi w’ekitongole kya UMEME oluvannyuma lw’obutakwata ssimu ze ezimanyiddwa, agudde butaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist