Bya Gerald Mulindwa
Mukono
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda asabye abakulira zi disitulikiti ez’enjawulo okuzza ebintu bya Buganda byonna byebakyalina mu bwangu kiyambe Obwakabaka okubiganyulwamu.

Okwogera bino Owek. Kawuki abadde akwasibwa ebizimbe bitaano ebibaddeko wofiisi za disitulikiti ye Mukono ez’enjawulo nga bimukwasiddwa ssentebe wa disitulikiti eno Andrew Ssenyonga Luzindana.
Ebizimbe bino kuliko omubadde mutuula akakiiko ka disitulikiti akagaba emirimu, ekizimbe omubadde wofiisi z’ebyensimbi eza disitulikiti, ekizimbe omuterekebwa ebintu ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi, ekizimbe ekimanyiddwa nga Lukiiko Hall omwali muteesezebwa enkiiko z’essaza n’ekizimbe kati omuli wofiisi z’ eggombolola ya Mutuba IV Kawuga.
Minisita Kawuki yeebazizza Ssentebe Ssenyonga n’olukiiko lwakola nalwo olw’okufuba okuzza ebintu bya Buganda ekintu ekyongedde okuteekawo enkolagana ennungi.
Owek. Kawuki yasabye abakulu ku disitulikiti okukwatira wamu n’Obwakabaka okusobola okuddabiriza ebizimbe bino bituukane n’ekitibwa kya Buganda.
Ate yye Ssentebe Luzindana yanyonyodde nga kino bwekyali ekimu ku bisuubizo byeyakola nga asaba abantu okumulonda nategeeza nti abadde alina okukituukiriza era nasiima banne abamuyambyeko okumaliriza ensonga eno.
“Minisita olwaleero lwe lunaku lwentuuka okubeera nga Manifesito yange eriko ebitundu ebibulayo ngituukiriza okubeera nga ngituusa ku 90 kubanga kino kyekibadde kibulayo. Tetuli bajjeemu okubeera nga ebizimbe byonna twandibikutte netubiwaayo naye yali COVID ono eyatuleetera ekizibu.” Ssenyonga bweyategeezezza.
Bbo abakiise ku lukiiko lwa Disitulikiti nga bakulembeddwa Sipiika Emmanuel Mbonye banyonyodde nga bwebaludde nga ensonga y’okuzza ebizimbe bino nga ebagulumbya okutuusa lwebasazeewo nga olukiiko awatali kwetemamu babiweeyo.
Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga, yeebazizza abakulembeze ku Disitulikiti ye Mukono olw’okubeera abawulize nebakomyawo ebizimbe by’Obwakabaka.
Omukolo guno gwetabiddwako abakungu n’abeebitibwa okwabadde; Kaggo,Ssenkulu wa Namulondo investments Ltd, abakiise mu lukiiko lwa Buganda okuva e Kyaggwe, ab’amagombolola mu Kyaggwe n’abaweereza ba Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu awamu n’abakulira disitulikiti ye Mukono .
Kinajjukirwa nti Obwakabaka bwa Buganda nga bukulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwakolaga endagaano ne gavumenti eyawakati era Pulezidenti Museveni nagiteekako omukono nga ezza ebimu ku bintu bya Buganda








