Bya Ssemakula John
Mmengo
Abakulembeze ba Nkobazambogo mu ggwanga basabiddwa okwetegereza ennonda y’abantu abatwala obukulembeze mukibiina kino kiyambe okukitwala mu maaso.
Bino byayogeddwa Oweek. Lukwago Rashid ku Lwomukaaga mu nsisinkano ya bassentebe, abaaliko abakulembeze n’abakiise baakyo mu lukiiko lwa Buganda, eyayindidde mu Bulange – Mmengo .
Oweek. Lukwago Rashid, yasabye abakulembeze bano okutema empenda z’okulaba engeri gyebayinza okuyambako okuteeka enteekateeka ya ‘Nnamutaayiika wa Buganda’ mu nkola n’okumwagazisa abalala.

Ssentebe wa Akalibaakendo mu ggwanga Lubyayi Abraham, yategeezezza nti kikulu okuyamba abalondebwa mu bifo okutegeera obuwangwa bwabwe kibayambe okukulembeza ennono mubuli kyebakola.
Ate yye Ssentebe w’ekibiina ki Nkobazambogo mu ggwanga lyonna Omuky. Nantamu Laziya, yanyonyodde nga Obwakabaka bwebukoze ennyo okusitula omwana omuwala.
Nantamu yeeyamye nga bwebamaliridde nga abaana abawala okunyweza ensonga Ssemasonga obwakabaka kwebuyimiridde

Eyaliko Ssentebe era nga ye yayogedde ku lwa banne Omuk. Kijjambu William, yalaze nga bwebannoonya abaliko abakulembeze ku matendekero ag’enjawulo bayambe okubeera bakalondoozi b’ekibiina mu matendekero gyebava.









