Bya Gerald Mulindwa
Gimbo – Busiro
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye, abantu okunoonya amawulire amatuufu beesonyiwe ebiyitingana ku mitimbagano ku mbeera ya Ssaabasajja Kabaka era bagende mu maaso n’emirimu gyabwe.
Mukuumaddamula awabudde nti, Obwakabaka bulina Terefayina, Leediyo, Olupapula ku mutimbagano olwa Gambuuze, n’ekibanja ekiraga ebifa ku Bwakabaka nga kuno kwebalina okuggya amawulire amatuufu ku Bwakabaka.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga, abadde akubagiza omukozi wa leediyo ya CBS David Lumansi, olw’okufiirwa Nnyina Elizabeth Nabulime e Gimbo mu Busiro ku Lwokutaano.
Mayiga agasseeko nti, “ Katikkiro bwayimirira bwati nabagamba nti Ssaabasajja Kabaka gyali ateredde ate ggwe nga ogendera ku ba Molodokaayi Nkuuwe! Ggwe oba oyagala ki?”
Kamalabyonna asabye abagala okutwala ebigambo bya Katikkiro wajja ekigere wabeera akiteeka basobole okuzza Buganda ku ntikko nga Kabaka abakulembedde.
Ono akoowodde abantu okumweyungako beebaze Katonda awadde Ssaabasajja obulamu obulungi.
Ku Lw’okusooka lwa wiiki eno Kamalabyonna yavaayo nasaba obuganda okwesonyiwa amawulire ag’enismattu ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka kubanga Beene tanaweebwa ku kitanda nga bwebyogerwa.
Katikkiro akuutidde abantu bulijjo okukola ennyo n’okwagala emirimu gyabwe era neyebaza Katonda olw’obulamu bw’omugenzi kubanga yakuza Lumansi nga omuvubuka alimu ensa.
Yasabye abantu okwagazisa abalala emirimu gyebakola.