• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Buganda yakulwanirira abantu abatalina ssente mu by’amateeka – Omulamuzi Kisakye

Gambuuze by Gambuuze
August 14, 2020
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
0
SHARES
30
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa 

Bulange

Omulamuzi Esther Katimbo Kisakye, yategeezezza nti Buganda bwegenda okulwanirira abantu abasembayo wansi naddala abatalina nsimbi zakusasula bannamateeka. 

Omulamuzi Kisakye, Katikkiro Mayiga ne bannamateeka

Omulamuzi Kisakye bino yabyogedde aggulawo wofiisi ya Buganda ey’ebyamateeka etuumiddwa ‘Buganda Royal Law Chambers’ mu bimuli bya Bulange  ku Lwokutaano .

“Wofiisi eno yalwawo okutuuka kubanga eguddwawo mukiseera nga ensi eri mu kukaaba naddala abantu abagobebwa ku ttaka n’abalala abalina obwetaavu ku nsonga z’amateeka naye nga tebasobola kusasula bisale bya waggulu ebya bannamateeka abeekozesa bokka,” Omulamuzi Kisakye bweyanyonyodde

Ono yasiimye Ssaabasajja Kabaka olw’okwolesebwa kuno kweyafunye nagigatta ku woofisi endala eziyamba abalina obwetaavu.

“Bajjaja ffe entalo bazirwanyisanga mafumu naye kati amafumu g’ennaku zino gali mu woofiis ezisalawo ne Kkooti,” Kisakye bweyayongeddeko.

Mu kwogera kwe Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti okutandikawo Woofiisi zino kijja kuyamba Obwakabaka kubanga bannamateeka bajja kubeera kumpi, era zijja kuyamba mu butaawukana ku mateeka. 

Katikkiro Mayiga, Omulamuzi Kisakye ne Ssaabawolereza Bwanika

Mayiga yagasseeko nti, guno mukisa munene  eri Obwakabaka kubanga bwebunaaba  bulwanirira federo,  okukuuma m’okutaasa Nnamulondo, okulwanirira n’okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda byonna bijja kolebwa nga  bagoberera Ssemateeka n’amateeka.

Yasabye Ssaabawolereza wa Buganda Oweek.Christopher Bwanika atandikire ku ky’okuzzaawo oluzzi Kalinda mu Ndeeba ku Kkanisa eyamenyeddwa.

Omulamuzi Kisakye nga aggulawo woofiisi za Buganda Royal Law Chambers

Omukolo gwetabiddwako Omumyuka wa Katikkiro Ow’okubiri Oweek. Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita ba Kabaka, bannamateeka okuva mu bitongole eby’enjawulo, Ba Ssenkulu b’ebitongole by’obwakabaka n’abakungu abalala abawerako.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist