Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naweebwa e – Paasipooti esookedde ddala mu ggwanga ku mukolo ogubadde ku kitebe kya minisitule y’ensonga ez’omunda mu ggwanga wano Kampala.
Omutanda yayaniriziddwa minisita w’ensonga z’omunda Gen. Jeje Odongo era nga Beene bwamaze okuteeka ebinkumu bye mu byuma bino eby’omulembe naddamu nasiima alambuzibwe ebikolebwa mu kifo kino.
Minisita Gen. Jeje Odongo wano wasinzidde nategeeza nti abantu bonna kati bakkirizibwa okujja okufuna e – Paasipooti kubanga enkola eno nyangu era nga ya mutindo.
Ate ye Minisita w’ebyamawulire mu Bwakabaka Oweek. Noah Kiyimba yategezezza omukutu guno nga Omutanda bweyasiimye okufuna e – paasipooti nga akabonero eri abantu be boogere okwettanira enkola za tekinologiya ow’omulembe kubanga eyo ensi gyelaga.