Bya Francis Ndugwa
Makindye
Olwa leero Kkooti y’Amajje ejulirwamu e Makindye nga ekuliddwamu Omulamuzi Elly Turyabona esaliddeko eyali omuyima wa Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta n’omukuumi we Ngoobi Sowali ku kibonerezo.
Okusinziira ku nsala empya eya kkooti eno, bano kati bakusibwa emyaka esatu n’emyezi mukaaga oluvanyuma lw’okubatolerako ebbanga lye bamaze ku alimanda mu kifo ky’emyaka 10 egyali gibawereddwa.
Omwaka oguwedde, kkooti y’Amajje bano yabasiba emyaka 10 oluvanyuma lw’okusingibwa omusango gw’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka.
Munnamateeka wa Abudallah Kitatta, Abuddallah Kiwanuka yagambye nti ensala ya kkooti temusanyudde kubanga okuva ku ntandikwa tewali bujjulizi bulumiriza muntu we.
Kkooti bwebadde ewa ensala yaayo etegeezezza nti ekibonerezo ekyaweebwa Kitatta kyali kinene ate nga tewali bujjulizi okuva ku bapoliisi abakwata Kitatta.